Bya BASASI BA BUKEDDE
REMA Namakula yazadde bbebi nga November 7, 2021 nga wayise emyaka ebiri bukya ayanjula Dr. Hamza Ssebunya mu November 2019.
Rema yayanjulira Nabbingo mu Bataka Zooni nga November 14, 2019 ku mukolo mawuuno ogwali mu maka ga Fransisco Ssemwanga nnannyini ssomero lya Pride College e Mpigi.
Rema azaalibwa abagenzi Charles Mukiibi eyabeeranga e Ssese ate mu Kampala yali abeera Makindye. Maama wa Rema ye mugenzi Nabbosa. Ku Ssande nga November 7, Rema lwe yazadde bbebi n’amutuuma Aaliyah Ssebunya.
Yamuzaalidde mu ddwaaliro lya Bethany Women’s & Family Hospital e Luzira. Eddwaaliro lifunye ettutumu olw’okuyamba abakazi abakaluubiriddwa okufuna embuto mu mbeera eyabulijjo ey’omusajja okwe gatta n’omukazi.
Eddwaaliro lirina ettabi eddala e Katabi Ntebe. Eddwaaliro likola ne ku bizibu by’abakyala okuli enseke n’ebirala ebyekuusa ku butazaala. Kyokka ku mukutu gwalyo ogwa yintaneti liraga nga lirina abakugu mu bya “Fertility assessment and treatment”. Fertility treatment bwe bujjanjabi bw’ekisawo obugenderera okuyambako okufuna olubuto.
Eddwaaliro eryo era lirina abakugu abasobola okugatta amagi g’abaagalana bwe kubeerako omu alina obuzibu bw’enkwaso ze oba obuzibu obulala nga bakozesa ssayansi ne bafuna ez zadde.
Eddwaaliro lino likulirwa Dr. Gonzaga Andabati. Rema yeekuumye nnyo okukuuma eby’olubuto nga bya kyama era batono nnyo abaamulabako ng’ali lubuto, ekintu ekitatera kulabika ku bayimbi oba abantu abettuttumu.
Rema Ne Bba Ssebunya Nga Beeraga Omukwano
Mu 2019, bwe kyassibwa mu lujjudde nga Rema ayagalana ne Ssebunya wajjawo ebibuuzo bibiri.
Ekisooka lwaki Rema aleseewo Eddie Kenzo n’apasula Ssebunya eyalina omukazi omulala Bushira Nabukenya. Kyategeezebwa mu kiseera ekyo nti Rema ye yali avuddeko Ssebunya okwawukana ne Nabukenya.
Ebibuuzo byaddibwamu Rema bwe yalaga obuzibu bwe yali ayitamu ne Kenzo n’okusinga ye Kenzo okugaana okumukuba empeta. Ate ebya Ssebunya okwawukana ne Nabukenya ne bakissa okusinga ku bamu bafamire ya Ssebunya abagambibwa okwe mulugunya lwaki Nabukenya tazaalira Ssebunya mwana.
Kyokka bwe baayawukana, Nabukenya n’afuna omusajja omulala Moses Kamya gwe yayanjula nga October 25, 2020 nga Nabukenya ali lubuto. Ku mukolo, omu ku bako, Matovu Bukenya yagamba mukoddomi we nti, “Muko katusuubire nti ggwe ku luno teweegezeemu bwegeza ng’oli (Ssebunya) bwe yatukola.”
Eyali Muka Ssebunya Ng'ali Lubuto.
Okwajula kwali mu maka ga Herbert Bukenya e Kireka ku luguudo lw’e Kinnawattaka. Okuva olwo amawulire ne gatandika okuyita ku mikutu gya ‘social media” okusomooza Ssebunya akole omulimu mu Rema azaaleyo ka bbebi kubanga Rema ewa Kenzo yazaalayo bbebi ate ne Nabukenya bwe yava ewa Ssebunya yafuna bbebi ewa Kamya. Okuva olwo abawagizi ba Ssebunya babadde bamusaba abakube gye baayita ‘Equaliser.’
Kino kyaleetawo embeera nga buli Rema lw’abuula mu bantu nga bakimuteekako nti ali lubuto lwe lumubuzizza. Kyategeezeddwa nti olutalo lw’okuzaala terwayisizza bulungi Rema nga yandiba ensonga lwaki tannayagala kufulumya bifaananyi bye ne bba oba ne bbebi.