ENSONGA z’abalongo oluusi zintabula ne ntandika okwebuuza kye nzizaako! Wabula ate bwe ndowooza ku mudidi gwa ssente ze njiira, olwo ne nsuulamu akayimba ka Red Banton aka ‘Sijja kuva Kampala...’ Wiiki ewedde bwe nnabadde ne Kato ne mmuziniramu amazina ku kayimba ka Rema Namakula aka ‘ Yo Sweet’ kulimu ebigambo bya ‘Juice wa Mango,’ mu ngeri y’okunneebaza okumunyeenyeza wato
yantuuzizza ku magulu ge n’andiisa bye baabadde batuleetedde okwabadde ennyama y’embuzi, sosegi, n’amatooke amookye.
Oluvannyuma yansitudde n’angalamiza ku kiriri n’atandika okummansiza amazike. Mumanyi okuzikuhhaanya ne mbalamu oluvannyuma nga ntuuse ewange ne nneesanga nga ndi mu bukadde busatu n’emitwalo 60. Nnabuuse
mu bbanga nga bwe mpoggana nti ‘’Bano sibata’’! Kato yanvulungudde n’ateeka ku ludda awatali ssente n’atandika masaagi ne ka woyiro nako ke yaggye mu kasawo
ke. Mu ngeri y’okwagalam okwongera okunkakasa nti talina ky’ayinza kunkola nga simukkirizza, yandese mu ngoye zange olwo n’ayiwa woyiro mu ngalo ze n’atandika masaagi ng’ava ku bugere. Awo nabadde ntunudde waggulu ku siiringi. Alina we yatuuse n’anfunya amagulu ng’amaviivi nago gatunudde waggulu n’ansiiga woyiro ng’ava ku maviivi nga bw’akkiriza ku bigere. Akateeteeyi ke nnabadde nneesaze akaabaddemu
engeri ya mmini nneesanze kakkiridde mu kiwato. Wano nnamulabye kukanula maaso mu ngeri y’okwewuunya olwo naye n’akyusa masaagi n’agizza mu bithambi. We
yatuukidde wano nze nabadde nayiddeyidde dda ne mpulira nga njagala kwetema sippeeya.
Mulowooza Omulongo yahhanyizza, yalabye ngezaako okuggyamub kabikka omulalu ate kwe kunkwata emikono nga bw’agamba nti essaawa ekyabulako katono.
Wakati nga mpulira njagala kunjokyayokya, Kato kwe kutandika bwati: ‘Nga
bw’otera okulaba nti nze ne Wasswa tewali alekerera munne, nnyinza n’okufuna obuzibu singa nkukalakata nga tategedde!’’ Obwongo bwange bwazzeeyo mangu ku kitanda
kiri kye nnasanga ewaabwe e Kyanja lwe nnakyalayo ku kiriko enkoba ezirabika nga
zisiba omuntu oba muyite omukazi amagulu n’emikono nga tasobola kuvaako olwo ne bamweggweera.
Apetayiti yange nneesanze yadduse dda era wakati mu kwebuuza kye nziza-ako, Kato kwe kunsaba mbawe olunaku lwe nsobola okubasisinkana bombi. Ebigambo byampeddeko kyokka ate bwe najjukidde omusimbi gwe bankwasa okukola ddiiru olwo Kato kwe kumutegeeza nti tujja kuwuliziganya ku WhatsApp. Tusisinkane ku Lwokubiri olujja