Bya Mathias Mazinga
Babbulaaza b’ekibiina ky’Obunnaddiini ekya Brothers of Christian Instruction, abamanyiddwa ennyo nga Babbulaaza b’e Kisubi, kifunye Babbulaaza abapya 12. Kubano kuliko Bro. Muhitu Christian Petro Stephano ava e Tanzania, Bro. Kalisa Pierre Celestin ava e Rwamda, Bro. Maniriho Schadrack (Rwanda), Bro. Oroko Machani Job (Kenya), Bro. Mrina Deogratias Gabriel (Tanzania), Bro. John Paul Musisi (Katende, Kampala archdiocese), Bro. Austin Niwamanya (Mbarara), Bro. Primus Nsimire (Ibanda, Mbarara), Bro. Dismus Nuwagaba (Mbarara), Bro. Quwanga Ambrosi Martin (Tanzania), Bro. Evaristo Tumwakiire (Kabale), ne Bro. Alex Twijukye (Mbarara). Bano baakubye ebiragaano byabwe ebisooka, omuli eky’Obwavu. Obuwulize, n’Obutukuvu, nebafuuka Bannaddiini b’ekibiina kino abajjuvu.

Bul 2(1)
Babbulaaza bana, okuli Bro. Barnabas Magambo Tumuheise ava e Kabale, Bro. Damian Byarugaba (Kabale), Bro. Raymond Tumwesigye (Mbarara), ne Bro. Simon Bamugaya (Mbarara), baajaguzza emyaka 25 mu Bunnaddiini.
Bro Anthony Musisi ava e Narozaali, Masaka, y’ajaguzza emyaka 50 mu Bunnaddiini, ate Bro. Ariseni Kwebiha ow’emyaka 98, ng’ava Hoima, y’ajaguzza emyaka 75 mu Bunnaddiini.

Bul 9
Abajaguza bonna Paapa Francis y’abaweerezza Omukisa gwe ogw’Obutume.
Omukolo gw’abadde mu Klezia y’essomero lya St Mary’s College Kisubi, ku Lusooka Omwaka (January 1), 2022. Gwakulembeddwa Ssabasumba Omulonde, Paulo Ssemogerere, ey’asiimye ennyo Babbulaaza b’ekibiina kino olw’okukulaakulanya Klezia n’eggwanga ngabayita mukugunjula abaana abato, nabavubuka.
Omukoo guno gwetabiddwako n’omumyuka wa Ssenjulu w’ekibina kino munsi yonna, Bro. Miguel Aritondo, ey’avudde e Roma