Ebya Bugingo ne Makula biwanvuye
Jan 03, 2022
EBYA Paasita Aloysius Bugingo ne Susan Makula byongedde okulanda, oludda olwabawaabira bwe luwandiikidde kkooti nga lwagala eyise ekiragiro okukwata abantu ab’enkizo batwalibwe mu kkooti babuuzibwe akana n’akataano.Balooya bawandiikidde kkooti eyise ekiragiro okukwata Polof. Simeon Kayiwa ow’ekkanisa ya Namirembe Christian Fellowship, Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda, Charles James Ssenkubuge (Siasa) n’eyali omubaka wa Lubaga South Paul Kato Lubwama.

NewVision Reporter
@NewVision
EBYA Paasita Aloysius Bugingo ne Susan Makula byongedde okulanda, oludda olwabawaabira bwe luwandiikidde kkooti nga lwagala eyise ekiragiro okukwata abantu ab’enkizo batwalibwe mu kkooti babuuzibwe akana n’akataano.
Balooya bawandiikidde kkooti eyise ekiragiro okukwata Polof. Simeon Kayiwa ow’ekkanisa ya Namirembe Christian Fellowship, Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda, Charles James Ssenkubuge (Siasa) n’eyali omubaka wa Lubaga South Paul Kato Lubwama.
Abantu abalala be baasabye kkooti eyiseeko ekiragiro ekibakwata kuliko abakozi ba Bugingo ku Salt Media, abayambi be n’abatera okuweereza amawulire ga Bugingo okuli: Simon Peter Kaswabuli, John V. Sserwaniko, Dickson Mubiru, Isaac Daniel Katende amanyiddwa nga Kasuku.
Abalala ye Nancy Kabahumuza ne Susan Nalwoga nga bano amanya gaabwe n’ennamba z’essimu zaalabikira ku kkaadi eziyita abantu ku mukolo gw’okwanjula wakati
wa Susan Makula ne Bugingo nga December 7, 2021 e Kawuku, Bwerenga ku ludda e Ntebe.
Munnamateeka Male Mabiriizi yawandiikidde kkooti e Ntebe nga December 31, 2021 nga yeesigama ku nnyingo eya 97 mu tteeka lya Magistrates Courts Act, n’agisaba eyise ekiragiro abantu abo bakwatibwe babaleete mu kkooti bakakibwe okuwa obujulizi
kubanga kkooti erina obuyinza mu musango gwonna ogw’obumenyi bw’amateeka okukaka abantu ab’enkizo mu musango oguba guwulirwa, okuwa obujulizi.
Kkooti esooka kubakubisa kirayiro mu maaso g’omulamuzi okugibuulira amazima ameereere era okulimba guba gusobola okufuuka omusango eri omujulizi ow’ekika ekyo.
Mabiriizi yategeezezza kkooti nti abantu abo ba nkizo kubanga tebaakoma ku kwetaba ku mukolo wabula abamu beenyigira mu nteekateeka y’omukolo ate abalala nga Kayiwa ne basabira abagole, kyokka nga bwe baatuukiriddwa oludda oluwaabi okuwa obujulizi
obuwandiike, baasazeewo okwebulankanya.
Mabiriizi yagambye nti mu mbeera bw’etyo, kkooti erina obuyinza okulagira abantu abo bakwatibwe batwalibwe mu kkooti bawe obujulizi obwo ku buwaze.
Omulamuzi ow’eddaala erisooka e Ntebe, Stella Okwong Paculal lwe yasembye okuwulira emisango egyagguddwa ku Bugingo ne Makula nga December 22, 2021 yalagidde emisango egyaggulwawo Mabiriizi gigattibwe n’egya Robert Lutalo
agiwulire lumu kubanga gifaanagana.
Omulamuzi Okwong yasomye emisango esatu egivunaanibwa Bugingo ne Makula
okuli:
Ji 2
1. Okukola obufumbo bw’obuwangwa nga tebasoose kufuna lukusa lwa kkooti olusazaamu obufumbo obw’ekkanisa obwasooka;
2. Makula okwanjula omusajja gwamanyidde ddala nti mufumbo ow’empeta;
3. Bugingo okwenyigira mu bikolwa eby’obwenzi ng’ate akyali mu bufumbo obw’empeta. Olunaku olwo Paasita Bugingo teyalabiseeko mu kkooti wabula yakiikiriddwa munnamateeka we Ronald Ruhinda. Omulamuzi yalagidde omusango guddemu nga January 21, 2022. Okusaba Mabiriizi kwe yataddeyo mu kkooti kwongera
okuteeka Bugingo, Makula ne mikwano gyabwe mu kattu kubanga abamu bazze boogera mu mawulire nti baali ku mukolo gwa kwanjula ate abalala nga Kayiwa nga bagamba nti baayitibwa kusabira bantu abaali ku mukolo ogw’okumanyagana.
Bugingo mu musango omulala ogwaggulwawo mukazi we Teddy Naluswa ku poliisi yakola siteetimenti nga yeegaanaeby’okwanjula nti era yeetaba ku mukolo
kwe yayitibwa ng’omugenyi.
KAYIWA NE BANNE BAANUKUDDE
KU BY’OKUYITIBWA MU KKOOTI
Ssenkubuge yategeezezza Bukedde eggulo nti ye tannaba kulaba ku bbaluwa emuyita mu kkooti so ng’abamwetaaga bamanyi bulungi waakolera ne we bayinza okumusanga era ne bwe babeera basazeewo kugenda kumusanga mu maka ge tekuli ggeeti basobola
okuyingirayo ne bamulaba.
“Bwe banaaba bampise mu kkooti nja kugendayo nginnyonnyole kubanga siri muntu wa kwekweka era siyinza kugijeemera,” Ssenkubuge bwe yaggumizza.
Kayiwa bwe yatuukiriddwa yategeezezza Bukedde nti yasalawo nsonga ezo obutaddamu kuzoogerako, nti kyokka bw’anaafuna biwandiiko ebiraga nti kkooti emwetaaga mwetegefu okugendayo.
Ate Gashumba yategeezezza nti ebya Mabiriizi n’omusango guno abirabira mu mawulire ne ku Social Media era ye alinze kiva mu kkooti kubanga kkooti y’erina obuyinza obubayita, ssi Mabiriizi.
BUGINGO AKUNZE ABAGOBEREZI OKUMUSABIRA KU BY’ALIMU
Mu kusaba okwabadde ku kkanisa ye eya House of Prayer Ministries e Makerere Kikoni eggulo, Bugingo mwe yasinzidde okukunga abagoberezi okusigala nga banywevu baleme kuyuuzibwa ebigenda mu maaso. Bugingo eyabadde awamu ne
Makula yakunze abagoberezi okumusabira ennyo avvuunuke by’ayitamu n’agamba nti akaseera k’ayitamu ne Makula beetaaga nnyo essaala. Yafukamidde ku kituuti ng’ali
wamu ne Makula n’agamba nti tanyooma ssaala ya muntu yenna nti era ebibanyeenya bisobola okugonjoolwa essaala.
Yacamudde abagoberezi bwe yagambye nti oluyimba olusinze okucaaka omwaka oguwedde lwe lugamba nti, “Ba ex bange bonna baafa…” n’agamba nti abo abakyakuumye enkolagana ne ba ex (abaaliko abaagalwa) tebagenda mu maaso babeera ku bikadde.
TEDDY ALAYIDDE OBUTAPOWA
Ate Teddy Naluswa Bugingo yasinzidde mu kusaba kwa Ssande eggulo n’ategeeza nti tagenda kuzikiza ku mulamwa gw’aliko wadde okutiisibwa mu mwaka guno
omuggya 2022.
Ng’abuulira mu kkanisa ye eya Word of Salvation Ministries International ku Bat Valley mu Kampala, Teddy olwakutte akazindaalo ne yeeyanjula nti: “Amannya gange
nze Paasita Teddy Naluswa Bugingo omu bwati, team no divorce, tugenda mu ggulu…..” olwo enduulu n’esaanikira Ekkanisa.
Yalangiridde ennaku 7 ez’okusaba n’okusiiba, omwaka 2022 gubeere gwa buwanguzi gye bali.
Omusango Teddy mw’awakanyiza okwawukana ne Bugingo nagwo guddamu mwezi guno nga January 25, 2022 mu kkooti enkulu ey’amaka e Makindye mu maaso g’Omulamuzi Joseph Murangira.
No Comment