Ndagire Mary Elizabeth ne Ashraf Lule bawangudde obwa Nnalulungi ne Sserulungi wa Bukedde

Feb 14, 2022

EMPAKA za Nnalulungi ne Serulungi wa Bukedde ezimaze ebbanga lya myezi esatu nga ziyinda zikomekkerezeddwa  wakati mu ssanyu  n'amaziga okuva mu bawangudde n'abawanguddwa.

By Patrick Kibirango
Journalist @New Vision

EMPAKA za Nnalulungi ne Serulungi wa Bukedde ezimaze ebbanga lya myezi esatu nga ziyinda zikomekkerezeddwa  wakati mu ssanyu  n'amaziga okuva mu bawangudde n'abawanguddwa.

Akulira Vision Group Don Innocent Wanyama ng'ali ne Sserulungi wa Bukedde oluvannyuma lw'okumukwasa ebisumuluzo by'emmotoka kapyata

Akulira Vision Group Don Innocent Wanyama ng'ali ne Sserulungi wa Bukedde oluvannyuma lw'okumukwasa ebisumuluzo by'emmotoka kapyata

Mary Elizabeth Ndagire ye mukyala eyawangudde obwa Nnalulungi bwa Bukedde oluvannyuma lw'okulangirirwa yaweereddwa emmotoka ya Bukedde kapyata ssaako n'ekyapa okuva mu Kampuni ya Kamoga Property Consultants ate mu baami   Lule Ashraf  y'awangudde era naye n'aweebwa emmotoka kapyata, Kakande Charles n'akwata eky'okusatu naye n'avaawo n'emitwalo 50.

Ndagire Mary Elizabeth ng'atudde mu mmotoka gyeyawangudde mu mapaka za Nnalulungi wa Bukedde

Ndagire Mary Elizabeth ng'atudde mu mmotoka gyeyawangudde mu mapaka za Nnalulungi wa Bukedde

Ndagire Mary Elizabeth ekyamuwanguzza yalaze nti alina ekiton eky'okuyimba ssaako n'okusuna endongo wamu n'okukozesa obulungi amaloboozi ekitali kyangu mu bakyala era ky'ekyamufudde ow'enjawulo ku balala bwatyo n'afuuka omuwanguzi.

Haji Muhamadi Kamoga owa Kamoga Property Consultants ng'awaayo ekyapa eri Nnalulungi wa Bukedde

Haji Muhamadi Kamoga owa Kamoga Property Consultants ng'awaayo ekyapa eri Nnalulungi wa Bukedde

Ashraf Lule ekyamuwanguzza obwa Sserulungi yalaze ng'alina ebitone bisatu omwabadde okuyimba, okutontoma ssaako n'okuzannya katemba akwata ku bantu bw'atyo n'awangula obwa sserulungi.

Akulira Vision Vision Group Don Innocent Wanyama ng'ayogerako eri abawanguzi

Akulira Vision Vision Group Don Innocent Wanyama ng'ayogerako eri abawanguzi

Charles Kakande yayolesezza ekitone ky'okutunga ebyambalo by'ekiyindi ssaako n'Abayudaaya mu ddakiika ttaano zokka bwatyo n'akwata eky'okusatu n'emitwalo 50.

Akulira Vision Group etwala ne Bukedde omukulu Don Wanyama Innocent yeebazizza abawanguzi olw'obuvumu bwebaayolesezza era n'asuubiza nti Vision Group y'akugenda mu maaso ng'etumbula ebitone eby'enjawulo okufaananako nga kino ekibaddewo ekya Miss ne Mr Bukedde.

Abawanguzi okuli Ashraf Lule, Ndagire Elizabeth ssaako ne Kakande Charles

Abawanguzi okuli Ashraf Lule, Ndagire Elizabeth ssaako ne Kakande Charles

Don yebazizza nnyo abavujjirizi b'ensimbi bonna abatadde sente mu kampeyini omuli Kampuni ya Kamoga Property Consultants eyawaddeyo ekyapa eri Nnalulungi wa Bukedde,Movit, Pearl Alhcoholic drinks, Journey Herbal Tea, Horeb Services, Kamoga Sumz Foods n'abalala.

Abasazi b'empaka okwabadde Batte, Fifi Da Queen, Bbosa Serunkuuma ssaako ne Annet Nandujja

Abasazi b'empaka okwabadde Batte, Fifi Da Queen, Bbosa Serunkuuma ssaako ne Annet Nandujja

Ye akulira Bukedde Tv omwami Kasasa Moses yebazizza abantu bonna abawagira Bukedde ssaako n'abaawangudde n'abayozaayoza olw'okwolesa ebitone ne batuuka kubuwanguzi.

Ann Taylor eyabadde kalabaalaba w'omukolo

Ann Taylor eyabadde kalabaalaba w'omukolo

Kasasa bw'abadde ayogera ku kyapa ekyaweereddwa Nnalulungi ategeezezza nti empaka zaali zetaaga abawanguzi babiri Nnalulungi ne Sserulungi ow'okusatu Bukedde  yamuwaddeyo buwi  emitwalo 50 egy'akasiimo

Akabonero akaakozeseddwa mu mpaka za Miss ne Mr Bukedde

Akabonero akaakozeseddwa mu mpaka za Miss ne Mr Bukedde

"Ababadde bagamba nti lwaki ekyapa tekiweereddwa akutte eky'okusatu bakola nsobi lwa nsonga twatandika Kampeyini nga tunoonya abantu babiri ow'okusatu teyabadde nnyo mu ntekateeka yaffe wabula yaweereddwa emitwalo 50 ng'akasiimo. Ekya Kamoga Muhamadi okukwata ekyapa n'akiwa Nnalulungi kw'abadde kusalawo kwe ng'ayagala okuzzaamu abakyala amaanyi n'okwongera okwekkiririzaamu" Bwatyo Kasasa akulira Bukedde Tv bwategeezezza.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});