Ssemaka eyazaala mu mukazi omufumbo alaajanidde aboobuyinza bamumutaaseeko nti ye alina amaka ge!!

Jun 06, 2025

Omukazi agamba nti ensonga baakuzimalira mu kkooti amuliyirire kubanga yamulekera omwana n'amusomesa yekka ppaka lwe yamaliriza obusawo.

By Saul Wokulira
Journalist @New Vision

Taata yeekubidde enduulu mu b'obuyinza bamuyambe okumutaawuluza ku mukazi omufumbo gwe yabojjereranga n'amuzaalamu omwana nga kati amwerippyeko kabaani ku ndongo.

Jane Kigongo Alemedde Ku Musajja Eyamuzaalamu Omwana. 13

Jane Kigongo Alemedde Ku Musajja Eyamuzaalamu Omwana. 13

Omukazi agamba nti ensonga baakuzimalira mu kkooti amuliyirire kubanga yamulekera omwana n'amusomesa yekka ppaka lwe yamaliriza obusawo. Bano batuuze ku kyalo Kitwe mu ggombolola y'e Kayonza mu disitulikiti y'e Kayunga.

Mzee Mwanje Ayagala Omukazi Amuveeko Ave Ne Mu Kibanja Kye.1

Mzee Mwanje Ayagala Omukazi Amuveeko Ave Ne Mu Kibanja Kye.1

Omukazi afuukidde mzee Stanely Mwanje olukokobe ye Jane Kigongo era nga okumuganza yali mu ddya ow'omusajja ayitibwa Kakoba Augustine wabula ng’a omusajja ono yatuuka ekiseera n'asuulawo amaka n'adda e Rwanda olw'embaliga za maama w'abaana.

Mzee Mwanje ensonga yaziroopye mu ofiisi ya Collins Kafeero avunaanyizibwa ku maka, abaana n'eddembe ly'obuntu era atuuzizza olukiiko ku kyalo.

Augustine Kakoba Bba Wa Jane Kigongo. 2

Augustine Kakoba Bba Wa Jane Kigongo. 2

Mzee Mwanje agambye nti omwana bwe yayingira siniya yasalira Jane Kigongo ettaka lya yiika emu n'alimuwa alitundeko mpolampola asomese omwana waabwe, wabula ettaka yagaana okulitunda n'alisigaza kyokka n'awamba ekitundu ekirala ekitaamuweebwa.

Mwanje agamba nti mukazi we ow'omu maka si musanyufu olwa Jane Kigongo okuba nti akyekulubeeseza ku bba (mzee Mwanje) ate nga n'ekibanja akiremeddeko.

Collins Kafeero Ng'ayogera Eri Abatuuze Mu Lukiiko Lwe Yayise, Ku Kkono John Mulamuzi Ssentebe W'eggombolola Kayonza.

Collins Kafeero Ng'ayogera Eri Abatuuze Mu Lukiiko Lwe Yayise, Ku Kkono John Mulamuzi Ssentebe W'eggombolola Kayonza.

Eby'omukyala Mwanje gw'alina mu maka gwe yeekwasa Kigongo, agambye nti oyo muto we era ye yamumufunira kubanga ye Kigongo yali tasobola kuta ddya lye ewa Kakoba, kwe kufunira Mwanje ow'oluganda lwe amufumbirwe akuume ebintu byabwe.

Kafeero awabudde nti mzee Mwanje yawa omwana ekifo asobole okusoma era kati yamaliriza n'olwekyo Kigongo, anywerere mu kitundu ekyamuweebwa ekitundu ekitaemuweebwa akyamuke.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});