Emikolo gy’okukuza emyaka 25 egy'essaza ly'e Lugazi mu bifaananyi
Feb 27, 2022
Abakristu okuva mu disitulikiti ennya okuli; Mukono, Buikwe, Kayunga n'e Buvuma ezikola essaza lya Klezia ery'e Lugazi bakungaanidde ku kitebe ky'essaza e Lugazi okukuza ebikujjuko eby'emyaka 25 bukyanga ssaza litandikibwaawo .

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
Bya Henry Nsubuga
Abakristu okuva mu disitulikiti ennya okuli; Mukono, Buikwe, Kayunga n'e Buvuma ezikola essaza lya Klezia ery'e Lugazi bakungaanidde ku kitebe ky'essaza e Lugazi okukuza ebikujjuko eby'emyaka 25 bukyanga ssaza litandikibwaawo .
Ebikujjuko bino bikulembeddwa Ekitambiro ky'Emmisa ekikulembeddwa Omusumba w'essaza lino, Christopher Kakooza.
Eklezia Y'essaza Ly'e Lugazi
Bp. Kakooza Ow'e Lugazi Ng'ali Mu Lunyirira Okugenda Mu Mmisa.
Abayimbi Okuva Ku Kisomesa Kya St. Paul E Mukono Nga Bakulembeddemu Ennyiriri Ezisimbye Okugenda Mu Mmisa.
Abamu Ku Bannaddiini Abeetabye Mu Mmisa
Omubaka wa Paapa mu Uganda, Luig Bianco, Ssaabasumba omuggya ow'essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemwogerere, ssentebe w'Abeepisikoopi mu Uganda, Omusumba w'essaza lya Klezia ery'e Kiyinda-Mityana, Bp. Anthony Ziwa, Bishop omuwummuze ow'essaza lino, Bp. Mathias Ssekamanya nabo beetabye mu Mmisa eno.
Essaza ly'e Lugazi lyekutula ku ly'e Kampala mu mwaka gwa 1996 mu mwaka gwa 1997 ne litongozebwa mu butongole.
Minisita Omubeezi Ebyenjigiriza Ebyawagulu John Chrysestom Muyingo Ne Mukyala We Nabo Beeyabye Mu Mmisa Eno.
Sipiika Wa Buganda, Patrick Luwaga Mugumbule Ne Katikkiro Eyawummula, Dan Muliika Nabo Tebalutumidde Mwana.
Bp. Ssekamanya ye Musumba eyasookera ddala mu bukulembeze bw'essaza lino nga yawummula mu 2015 Bp. Kakooza n'amuddira mu bigere.
Bafaaza ne bannaddiini Ababiikira okuva mu ssaza ly'e Lugazi n'ebweru waalyo bangi beetabye mu Mmisa eno.
Ng'ayigiriza, Bp. Ssekamanya yennyamidde olw'omuwendo gw'Abaktistu okugukendedde mu Klezia ensangi zino nga n'eby'embi bano tebagenda kusoma Ssande ne basigala nga bakola emirimu egy'eanjawulo sso nga Ssande emanyiddwa ng'olunaku lw'okuwummula.
Atenderezza Abaminsani abaaleeta kuno eddiini emyaka egisoba ne mu 100 ng'eno ye yali entandikwa y'obugunjufu mu Uganda.
Anokoddeyo Omubiikira Maama Keviina eyatandika amalwaliro n'amasomero okuli St. Francis Nsambya Hospital, St. Francis Naggalama, St. Francis Nkokonjeru, n'amasomero ag'enjawulo.
No Comment