Namugongo: Bagaanyi bamalaaya n’abatamiivu
May 22, 2025
ENTEEKATEEKA z’okulamaga ku biggwa by’Abajulizi e Namugongo zengedde ng’ebifo byonna okuli eky’Abakatuliki n’Abakristaayo biri mu kuyooyootebwa wamun’enkiiko z’eby’okwerinda ezituula buli kadde.

NewVision Reporter
@NewVision
ENTEEKATEEKA z’okulamaga ku biggwa by’Abajulizi e Namugongo zengedde ng’ebifo byonna okuli eky’Abakatuliki n’Abakristaayo biri mu kuyooyootebwa wamu
n’enkiiko z’eby’okwerinda ezituula buli kadde.
Faaza Richard Ssemanda akulembeddemu ekitongole ekitimba ku kiggwa ky’Abakatoliki ategeezezza nga bwe baatandise edda okuwanikayo ebitaala
wamu n’okutimba n’okwawulamu amakubo okuyambako abalamazi okutambula bulungi. Ategeezezza ng’okutimba bwe gugenda okuggyibwako engalo nga June 2, olwo
nkeera emikolo gibeewo.
Ye Joseph Nsubuga akuliddemu omulimu gw’okuddaabiriza ekifo we basabira ku kayanja ategeezezza ng’ekifo kino bwe kibadde kitonnya era bamaze okukiddaabiriza, era kati bakutte ku bifo ebirala nga okufuuyira langi aweetaagisa nga ne Kleziya eri mu kuyooyootebwa ne wabweru waayo. N’ategeeza nti, ebikolebwa bisuubirwa okuggwa
nga May 28.
Bwanamukulu w’ekiggwa ky’Abajulizi Abakatoliki, Fr. Vincent Lubega ategeezezza nga bwe waliwo enkyukakyuka mu bitambir bya Mmisa, ebibadde bibeerawo ku ssaawa 10:00 ez’akawungeezi bizze ku ssaawa 7:00 ez’emisana ate yo essaala ya Novena ekulemberamu ebikujjuko bino ategeezezza nga bw’etandika ku Lwokutaano akawungeezi nga bagisuubira okuggulwawo Ssaabasumba w’Essaza
Ekkulu ery’e Kampala, Paul Ssemwogerere.
Ategeezezza ng’Abalamazi abasooka bwe basuubirwa okutuuka nga May
23 ne 24 okuva Bushenyi, wabula bo abategesi okuva mu Ssaza ly’e Lugazi basuubirwa okutuuka nga May 27 era nga bataddewo emmeeza ey’okuwandisa abalamazi bonna n’asaba Abalamazi okwewandiisa nga batuuse. Abaana baakulamaga nga May 30 nga wano Fr. Lubega w’asabidde abazadde obutajja na baana ku lunaku lw’okulamaga nga June 3, kubanga tebajja kubakkiriza kuyingira. Ku by’okwerinda asabye Abalamazi okugoberera ebyo ebibalambikibwa n’ategeeza nti, waliwo n’ebifo bye batagenda kukkirizaamu bantu kugendamu era bo abatamiivu, bamalaaya n’abakozesa
ebiragalalagala nga sigala tebagenda kukkirizibwa mu kifo kino
No Comment