Obunkenke nga KCCA ewandiisa abasuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe

May 22, 2025

ENTEEKATEEKA za KCCA okuwandiisa abasuubuzi abakolera mu katale ka St. Balikuddembe - Owino zitemyemu abasuubuzi, abakiwakanya ne bawandiikira akulira KCCA okuyimiriza okuwandiika amangu ddala.

NewVision Reporter
@NewVision

ENTEEKATEEKA za KCCA okuwandiisa abasuubuzi abakolera mu katale ka St. Balikuddembe - Owino zitemyemu abasuubuzi, abakiwakanya ne bawandiikira akulira KCCA okuyimiriza okuwandiika amangu ddala.
KCCA yatandise ku Mmande okuwandiisa abasuubuzi mu katale kano mu kaweefube w’okulongoosa enzirukanya y’obutale bwa Gavumenti mu Kampala.
Bakira bawandiika oyo gwe basanze ku mudaala oba mu kayumba, ekitabudde abasuubuzi naddala bannannyini midaala n’obuyumba ate abapangisa nga bakiwagira.
Omwogezi w’ekibiina kya SSLOA, Wilberforce Mubiru yategeezezza nti KCCA ky’ekola kikyamu kubanga waliwo ekiragiro kya Kkooti Enkulu ekikugira KCCA okubeerako ekintu kyonna ky’ekola mu katale kano.
“Emidaala n’obuduuka obuli mu katale kano abasuubuzi be beekolamu omulimu ne babwezimbira, kyokka kikwasa ennaku nti kati KCCA ewandiseemu bantu balala olwo ffe abeezimbira tuviiriddemu awo,” Mubiru bwe yategeezezza.
Yeegattiddwaako Jamil Baseka eyakulembedde banne abasobye mu 67 ne baawandiikira akulira KCCA, Hajati Sharifah Buzeki ebbaluwa nga baagala ayimirize enteekateeka y’okuwandiisa abasuubuzi kuba emenya mateeka.
Mu kiwandiiko kino kye baayisizza mu bannamateeka baabwe aba Kabega, Bogezi& Bukenya Advocates, abasuubuzi bajjukizza KCCA nti waliwo ekiragiro kya kkooti ekigikugira okugenda mu maaso n’omulimu gw’eriko. Baalabudde nti ssinga eneegenda mu maaso n’okuyisa amaaso mu kiragiro kino baakuwalirizibwa okuddayo mu kkooti bagiwaabire.
Balandiroodi baategeezezza nti baasanga akatale tekafaanika ne bakatereeza kyokka mu kiseera kino waliwo abaagala okuganyulwa mu ntuuyo zaabwe.
Embeera y’okuwandiisa yatandise ya kimpoowooze mu basuubuzi kyokka oluvannyuma n’ecankalana olw’abamu abakolera mu zooni ya Soweto okugaana KCCA okuwandiisa emidaala gyabwe nga bagamba enkola si nnambulukufu.
Bakira aba KCCA batuuka ku buli mudaala n’essimu zaabwe ze babadde beeyambisa okukola omulimu guno. Abasuubuzi baabadde basabibwa densite z’eggwanga n’okukubwa akafaananyi akalaga omuntu gwe bawandisirizza ku mudaala.
ABASANYUKIDDE ENTEEKATEEKA BAWADDE ENSONGA ZAABWE:
Abasuubuzi abaakulembeddwa, Robert Mukalazi, ng’asuubula ngatto yategeezezza nti KCCA okubawandiika kigenda kubayamba okweteekerateekera etteeka ly’obutale eppya.
Yawagiddwa John Musinguzi eyategeezezza nti eky’okubala abasuubuzi kirungi kuba bateekeddwa okumanya nti weebali mu mateeka.
Bagamba nti enteekateeka eno terina kweraliikiriza balandiroodi kubanga ne Pulezidenti yayisa ebiragiro nti buli akolera mu butale afuuse mupangisa wa KCCA.
Baagambye nti obwannannyini bwa balandiroodi bwavaawo okuva lwe baalemwa okutuukiriza obukwakkulizo obwabaweebwa Gavumenti.
Abalala baalumirizza nti SSLOA yaakaweebwako ebitundu 80 ku 100, ku ssente Gavumenti ze yabaliyirira ku ttaka okutudde akatale nga tesobola kulemesa nteekateeka ya Gavumenti ng’ebanjaayo ebitundu 20 byokka ku 100.
Bino we bijjidde nga Kkooti Enkulu yayisa ekiragiro nga June 8, 2012, ekikugira KCCA okweddiza akatale kano nga kiraga nti akatale ka bwannannyini era aba kkampuni ya SSLOA be bakavunaanyizibwako.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});