Poliisi esituke egende ebuuze kitaawe wa Oulanyah bye yayogera - Minisita Otafiire

Apr 14, 2022

MINISITA w’ensonga z’omunda mu ggwang,a Maj. Gen. Kahinda Otafiire alagidde omwogezi wa poliisi, Fred Enanga agende ewa kitaawe w’omugenzi weyali sipiika wa palamenti Jacob Oulanyah ( Nathan Okori ) anoonyereze ku nsonga zeyayogera mu kukiiza mutabani we nti yafa butwa.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Edith Namayanja

Ku Mmande ya wiiki eno, Enanga yayita Nathan Okori (taata wa Oulanyah)  ssaako n’abantu abalala okuli; Robert Kyagulanyi, minisita Chris Baryomunsi, Ssentebe wa NRM mu Buganda Godfrey Kiwanda kw’ossa abakulembeze ab'ennono  ku kitebe kya poliisi e Kibuli babeeko bye bannyonnyola ku nfa ya Oulanyah .

Otafiire okutuuka okwogera bino, abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola ebyokwerinda n’ensonga z’omunda mu ggwanga akakubirizibwa omubaka omukyala ow’e Sheema, Rosemary Nyakikongoro era omubaka wa Budiope West- Ibrahim Kyoto n’abuuza minisita ono wa Enanga gyeyaggya obuyinza okuyita kitaawe w’omugenzi .

Otafiire ategeezezza nti ebiragiro bya Enanga okuyita muzeeyi Okori annyonnyole ku bye yayogera byali wansi w’amateeka naye ate engeri gye yabikwatamu okuyita abantu okujja e Kibuli teyali ya mpisa nga singa baagala okunoonyereza beesitukire bagende e Omoro.

Ono agasseeko nti mu kaseera kano Okori ali mu kunyolwa naye ng’ asuubira poliisi okutandika okunoonyereza ku nsonga ze wabula nga singa engenda maaso n’okusirika ajja kulowooza nti tebamubalamu magezi.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});