Palementi ejjukidde omugenzi Jacob Oulanya

Mar 23, 2023

PALAMENTI etenderezza emirimu gy’eyali sipiika Jacob L’Okori Oulanyah gyeyaleka akoledde eggwanga n’engeri gyeyali akolamu emirimu gye nga bino byonna bikyali byakulabirako eri palamenti.

NewVision Reporter
@NewVision

PALAMENTI etenderezza emirimu gy’eyali sipiika Jacob L’Okori Oulanyah gyeyaleka akoledde eggwanga n’engeri gyeyali akolamu emirimu gye nga bino byonna bikyali byakulabirako eri palamenti.

Oluvanyuma lw’omwaka okuwera bukyanga Oulanyah ava mubulamu bw’ensi eno, palamenti leero ebadde n’olutuula olwenjawulo okujjukira  emirimu emirungi gyeyakola eggwanga nga ekiteeso ky’okumujjukira  kireteddwa nnampala wa gavumenti Hamson Obua era ne kisembebwa akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti nga kiwagiddwa ababaka bonna abetabye mu lutuula luno.

Obua omugenzi amwogeddeko nga omuntu eyakolerera nga okuleka omukululo omulungi mubuli kimu kyonna kyeyakola nga nti era anajjukirwa nnyo okukulemberamu enteeseganya n’omupembe Joseph Kony okumalawo entalo mu bintundu by’omumambuka.

Agambye nti bannamujjukiranga olw’okukutiira ababaka okufuba ennyo okunonyerezza nga tebanajja kubako kyebogerako ku ‘floor’ ya palamenti nga n’ekisinga byonna kwekukwata obudde nga kino bakikuumye okutuusa kati.

Omubaka wa Kalungu West Joseph Ssewungu nga yakikiridde akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti  ategeezezza nti omugenzi anajjukirwa nnyo olw’okugoberera amateeka  kubanga ekisanjja kye bwekyagwako nga omumyuka wa siipika , yakwatta obuyinza nabuzaayo eri kalani wa palamenti nga yajjira na ku ddigi nga taliiko bakuumi.

Ssewungu agambye nti omugezi yagenda okuva mubulamu bw’ensi nga atandiise ku nteekateeka ey’okulaba nga n’ebiwandiiko ebiretebwa ba minisita ab’ekisikirize bitwalibwa nga ebyamakul bwatyo nasaba abaliwo okutwala maaso entekateeka eno.

Omubaka wa munisipaali y’e Kira Ibrahim Ssemujju  asomozezza gavumenti okuvayo enyonyole eggwanga oba okwemulugunya kwa taata w’omugezi kweyalina nti omwana we yatibwa butibwa bakunonyerezako era oba nga bakwata abo abaali mukobanne eryo nga pulezidenti Museveni bweyali asuubizza.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});