Amawulire

Banna NRM bakoowoddwa okweyiwa ku Kitebi SS okwaniriza Pulezidenti Museveni mu bungi enkya

Enteekateeka z'okwaniriza pulezidenti Museveni e Lubaga enkya, ku ssomero lya Kitebi SS gy'agenda okukuba olukung'aana okunoonya akalulu akamuzza ku Ntebe y'omukulembeze bw'eggwanga zongeddwaamu amaanyi n'ebinnonnoggo.

Banna NRM bakoowoddwa okweyiwa ku Kitebi SS okwaniriza Pulezidenti Museveni mu bungi enkya
By: Vivien Nakitende, Journalists @New Vision

Enteekateeka z'okwaniriza pulezidenti Museveni e Lubaga enkya, ku ssomero lya Kitebi SS gy'agenda okukuba olukung'aana okunoonya akalulu akamuzza ku Ntebe y'omukulembeze bw'eggwanga zongeddwaamu amaanyi n'ebinnonnoggo.

Hajjati Minsa nga yeebaza Kamulegeya (ku ddyo) ne Majambere, ku kitebi ss

Hajjati Minsa nga yeebaza Kamulegeya (ku ddyo) ne Majambere, ku kitebi ss

Ebbugumu lyeyongedde, era enteekateeka z'okumukyaza omuli; okuyooyoota ekisaawe, okusibayo emizandaalo ne siteegi, okutimba ebipande bigenda bukwakku.

Ssentebe wa NRM e Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula omu ku bakulembeddemu enteekateeka zino, agabudde abawagizi ba NRM ente 10 ze bagenda okusula nga balya n'enkya balyeko era okufumba kugenda mu maaso ku ssomero lya Kitebi SS.

Ebimu ku bipande ebyaniriza muzeeyi bye batimbye ku ssomero lya Kitebi olwaleero.

Ebimu ku bipande ebyaniriza muzeeyi bye batimbye ku ssomero lya Kitebi olwaleero.

Majambere alambuzza minisita wa Kampala Hajati Minsa Kabanda omulimu nga bwe gutambula era Minisita Kabanda n'amusiima n'ategeeza nti alaze omutima gwa NRM omutuufu, nti era abantu nga Majambere be bakulembeze eggwanga be lyetaaga kuba asobola n'okukwata mu nsawo ye ku lw'abantu.

Majambere akoowodde abawagizi ba NRM okuyiika mu bungi enkya baanirize omukulembeze w'eggwanga, n'asiima Minisita Kabanda okukolera awamu nabo okulaba ng'okukyala kwa pulezidenti kutambula bulungi.

Abasuubuzi nabo bazze okutunda ebyabwe olwaleero.

Abasuubuzi nabo bazze okutunda ebyabwe olwaleero.

Ategeezezza nti, enteekateeka zonna ez'okukyaza omukulembeze w'eggwanga  zigenda bulungi era beetegese bulungi.

Minisita Kabanda alambudde emmere omuli; amatooke, omuceere wamu n'enyama ebiri mu kufumbibwa ne yeebaza ssentebe Majambere ne Haji Muhammad Kamulegeya akulira essomero lya Kitebi SS abawomye omutwe mu by'okuliisa abantu.

Minisita Minsa Kabanda ng'aliko by'annyonnyola abamu ku banna NRM abaabadde ku Kitebi ss olwaleero.

Minisita Minsa Kabanda ng'aliko by'annyonnyola abamu ku banna NRM abaabadde ku Kitebi ss olwaleero.

Naye akoowodde banna Lubaga bonna enkya okweyiwa mu bungi ku kisaawe ky'essomero lya Kitebi P/S okwaniriza muzeeyi mu ssanyu.

Aba bodaboda nabo bayisizza ebivvulu nga bakunga abantu okujja enkya mu bungi okwaniriza Jjajja mwami e Kitebi.

Tags:
NRM
Majambere
Kitebi ss
Pulezidenti museveni
Kweyiwa
Buwagizi