Enteekateeka z'okwaniriza pulezidenti Museveni e Lubaga ku mmande nga 5 January zongeddwaamu amaanyi.

Majembere akuliddemu enteekateeka y'okukyaza Pulezidenti Museveni nga bali munteekateeka
Leero ssentebe wa NRM e Lubaga omu ku bakulembeddemu okwaniriza pulezidenti Museveni e Lubaga, asiibye ku ssomero lya Kitebi PS okulaba nga buli kimu kitambula bulungi, era ekifo kiyoyooteddwa n'okutimba ebipande bya muzeeyi okwetoloola ekifo wonna.

Majembere ng'atereeza ekifo
Majambere agamba okwaniriza pulezidenti Museveni mu maanyi, baba baaniriza nteekateeka ennungi ey'enkulaakulana gyaleese mu bantu.
Naakubiriza banna Lubaga bonna okujja okubaawo mu bungi okwaniriza omukulembeze owenkulaakulana ey'omuggundu ku mmande.
Agamba nti, eno laale ya pulezidenti e Lubaga egenda kumemyawo zonna.

Mmajembere ng'ali ku kiyitirirwa
Naawera nti kuluno Museveni Kampala agenda kumuwangulira waggulu, nti luli baamubba mu Kampala naatawangula, naye leero agenda kuwangulira waggulu.
Enteekateeka zikyagenda mumaaso era abantu ab'enjawulo beeyowa ku ssomero lya Kitebi PS okubaako nabo ettoffaali lyebateekawo okwaniriza pulezidenti.
Batimbe ebiyitirirwa mu makuno gonna agatuuka ku ssomero lya Kitebi PS, pulezidenti Museveni gyagenda okubeera ku mande.