Abatuuze mu zzooni ya Masajja A ku luguudo lw'e Busaabala, bawanjagidde be kikwatako ku bubbi obususse mu kitundu.
Bagamba nti obubbi buno, naddala obwokuteega abantu ne babaggyako amasimu n'obusawo akawungeezi ku kifuba, businze kubeera kumpi n' Eklezia ya St. Pius ku kasaawe.
Bagasseeko nti akaguudo akava ku St. Pius okwambuka n'okutuuka ku lwomu Kikajjo, kafuuse kabulabe nga babateegeramu n'ebiso.
Basabye akulira poliisi yomu Kikajjo, okubaako kyakolawo ku bavubuka bano, abasusse nga n'abamu bava Nsambya.