Kaawonawo mu mmotoka omwafiiridde aba NUP anyumya engeri gye yasimattuse

SHARIF Katumba akulira abavubuka ba NUP mu Kawempe- Mbogo ye kaawonawo anyumya bwe yasimattuse akabenje omwafiiridde banne babiri n’abalala bataano ne balumizibwa era nga bali mu mbeera mbi ddala.

Sharif Katumba omu ku baawonye mu mmotoka nga talina bisago by'amaanyi.
By Sarah Zawedde
Journalists @New Vision
#Kaawonawo #akabenje #NUP

Bya Sarah Zawedde

SHARIF Katumba akulira abavubuka ba NUP mu Kawempe- Mbogo ye kaawonawo anyumya bwe yasimattuse akabenje omwafiiridde banne babiri n’abalala bataano ne balumizibwa era nga bali mu mbeera mbi ddala.

Katumba agamba nti emmotoka yaabwe yabadde ku sipiidi 180 nga baabadde mu luseregende lwa   mmotoka eziwerekera mukama waabwe Robert Kyagulanyi nga bagenda Omoro . 

Yagambye nti babadde mu mmotoka ya Nusifah Nakato kyokka n’efuna obuzibu nga batuuse  Iganga .

Nakato yakubidde  Denis Waiswa, omu ku bakunga abantu okuyingira NUP mu Iganga abayambe okubatuusa gye babadde bagenda mu kunoonyeza Simon Tolit Akecha  akalulu mu disitulikiti ya  Omoro .

Waiswa yayingidde emmotoka n’avuga  ku sipiidi okugoba mmotoka za Kyagulanyi ezaabadde zitulese okumala essaawa nga bbiri . Kyokka  twabadde twakavugako mayiro nga 10 emmotoka n’eyabika  omupiira ogw’emabega .

Olw’okuba twabadde ku sipiidi nga kaserengeto ka maanyi ,Waiswa eyabadde avuga yageezezaako okunyweza emmotoka mu ngalo kyokka n’ewaba nga bw’etagala oluvannyuma ne yeefuula emirundi ena n’esibira ku kyuma .

Yagambye nti twabadde tetufaayo ku sipiidi kubanga twamanyiira ate Denis Waiswa eyabadde avuga yabadde ddereeva mulungi ng’alina ebisaanyizo byonna. 

Twamaze ekiseera nga tusiriikidde mu mmotoka okugyako nga nze ndajaana era oluvannyuma abadduukirize baatemye emmotoka ne batusikamu.   

Kansala Kiggundu yabadde atudde emabega emmotoka yamugoyeza n’afiirawo .

Nze nnabadde ntudde emabega wa ddereeva Waiswa kyokka ng’ebyuma byamunyigidde wamu mu ntebe  ne yeefunyiza  ku siteeringi nga bagenze okumusikamu nga ali mu mbeera mbi n’afa oluvannyuma .

Wabula abalala okuli;  kkansala Nusifah Nakato,  Kavuma , Den City ne Alon Kitamirike munnamawulire wa BBS nabo bayisiddwa bubi nga bamenyese amagulu n’e mikono .

Wabula Katumba agamba nti yafunye ebinubule mu mugongo era alumizibwa mu kifuba nga waakugenda mu ddwaaliro bamukube ebifaananyi.

Kiggundu yaziikiddwa e Bombo Lokole ku Ssande .