Asabye abasajja okusiimanga abakazi be batobye nabo okuva mu bwavu

Aug 24, 2022

EBYENTAMBULA byasannyaladde mu bitundu by’e Buddo omugagga w’omu kitundu kino amanyiddwa nga Salvatory Tusiime bwe yabadde ayanjulwa mukyala we Doreen Nakimbugwe.

NewVision Reporter
@NewVision

Tusiime omusuubuzi ow’amaanyi mu Buddo ate omukozi ow’ebyokunywa mu kkampuni emu yacamudde abatuuze mu kitundu olw’oluseregende lw’emmotoka ezibadde zisoba mu 50 ezimuwerekeddeko okwanjulwa e Mulago mu Kampala.

Tusiime ne mukyala we eyamwanjudde.

Tusiime ne mukyala we eyamwanjudde.

Tusiime ategeezezza nti mukyala we amaze naye emyaka egisoba mu 13 nti era mu myaka egyo amuyigiddeko ebintu ebirungi bingi nnyo era ng’ekirabo kyokka ky’abadde alina okumuwa okumusanyusa kwe kugenda mu bakadde be.

Mmeeya Walukagga naye yasanyusizza abantu.

Mmeeya Walukagga naye yasanyusizza abantu.

Tusiime asabye abasajja okusiimanga bakyala baabwe naddala be batobye nabo okuva mu mbeera embi kubanga  baba balaze obugumiikiriza nti nga ye kye kimuwalirizza okwanjula mukyala we olw’ebirungi by’amuwadde.

Omukolo guno gwetabiddwako abayimbi ab’enjawulo abaasanyusizza abantu era ku bano mubaddemu, mmeeya wa Kyengera, Mathias Walukagga, David Lutalo ne Betina Namukasa.

 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});