Bino Reverend Kisakye yabyogedde bwe yabadde akulembeddemu okusaba kw'abakozi ba Vision Group Abakristaayo okubeerayo buli Lwakusatu olwokubiri buli mwezi wansi w'omutwe ogugamba nti ebintu ebireetera Katonda akamwenyumwenyu.
Kisakye yategeezezza nti nti kikulu nnyo omukkiriza okukuuma enkolagana ennungi ne Katonda we nga kino kisoboka ssinga Omukristaayo agoberera ebyo Bayibuli by'eyogerako nti bye bisanyusa Katonda.

Rev Kubega Kisakye ng'abuulira.
Yagambye nti buli muntu Katonda amuwa obusobozi obw'enjawulo naye ekikulu kiri ku ngeri omuntu gy'abukozesaamu okwekulaakulanya n'okuweereza Katonda, n'akinogaanya nti Katonda tasanyukira abo b'awa obusobozi kyokka ne batamuweereza wadde okuyamba abantu abeetaavu. Mu birala ebisanyusa Katonda mulimu okumwagala ekisukkiridde.
Wano yeebazizza abakozi bano olw'okuwangayo essaawa eno buli mwezi okusinza Katonda. Ekirala kwe kumwesigira ddala: nga Noah (ayogerwako mu Bayibuli) bwe yeesiga Katonda naddala mu kaseera ak'okusoomoozebwa, okukemebwa n'ebirala.

Wano Ng'abasiiga Amafuna Ng'akabonero K'okubawa Omukisa Mu Mwezi Guno Gwe Yayise Ogw'okukungula500
Ekirala kwe kwesiganga Katonda n'omutima gwonna mu buli mbeera kw'ossa okumutendereza n'okumwebaza mu buli kintu ekiba kituuse ku mukkiriza.
Rev Kisakye yabadde akiikiridde Rev. Samwuel Muwonge (akulira ebyokusinza n'okutendereza mu Bulabirizu bw'e Namirembe), ng'ono ye Musumba wa Vision Group ow'enkalakkalira ng'okusaba kuno kwabaddemu n'abayimbi ba Zions Choir okuva ku St Stephens Kireka.