ENDWADDE z’emitwe zirabika nga zeeyongedde mu bantu era okunoonyereza okwakolebwa abasawo abakugu mu kujjanjaba okuva mu ttendekero e Makerere nga bayambibwako gavumenti kulaga nti ku buli bantu bataano. omu alina obulwadde bw’omutwe.
Polof. Noeline Nakasujja, omusomesa era nga mukugu mu kujjanjaba endwadde z’emitwe okuva mu yunivasite e Makerere yategeezezza nti, abantu bangi ababonaabona n’endwadde z’emitwe. kyokka ne batayambibwa mangu.
Omuntu abeera afunye obuzibu ku mutwe buyinza okukosa obulamu bwe, oluusi nga buyinza n’okumuviirako okufa, omuntu ali mu mbeera eno abeera n’obubonero buno wammanga:
l Abeera atya nnyo, afuna okwekanga, okutyemuka omutima, teyeebaka bulungi, oluusi aloota ebintu ebimukanga n’awawamuka mu tulo.
l Yeewulira nga atakyasobola kweyamba ate buli kiseera abeera ajjukira ebintu ebyabaddewo ebyakanze obulamu bwe ekyongera okukosa obwongo bwe.
Ebintu ebisinga okukosa abantu ne bibateeka mu mbeera eno mulimu: okutulugunyizibwa, obusambattuko mu maka, okusosolebwa, okukakibwa omukwano, ng’omuntu yali abaddeko mu lutalo. Era omuntu ono atandika okwewala abantu, ekifo we yafunira obuzibu obwo n’ebifo byonna ebikyefaanaanyiriza.
l Mu kiseera kino, waliwo abalwadde bangi abaafuna ku ssennyiga omukambwe naye nga tebakyayagala na kusemberera ddwaaliro kuba buli lw’aliraba ajjukira ng’olumbe bwe lwali lumututte.
Dr. Dickens Akena, omukugu mu kujjanjaba n’okunoonyereza ku ndwadde z’emitwe era nga y’abadde omusaale mu kunoonyereza kuno yategeezezza nti, okunoonyereza kuno kwetabwamu abantu 814 okuva mu disitulikiti nnya omuli; Kampala, Mukono, Masaka ne Wakiso.
Kyazuulibwa nga ku buli bantu bataano, omu ku bo yalina obubonero obulaga nti, yali afunyeeko ku kintu ekyali kikanze obulamu bwe, ne kikosa ebirowoozo bye era nga kisobola okumuviirako okufuna obulwadde bw’omutwe.
Kyokka olw’obutamanya, kitwala emyaka 10 omuntu okwezuula nti, alina obulwadde bw’omutwe nga yeetaaga okulaba omusawo ekitegeza nti, abasinga tebafuna bujjanjabi mu budde.
Ekirala abantu beesittala nnyo oba okwewala obulwadde obwekuusa ku mutwe noolwekyo omuntu ne bw’aba alina ekizibu, balwawo okweyunira abasawo, so ng’obulwadde bwo bukula, omuntu n’abeera awo nga teyeebaka, omutima ne gumwewuuba, ebirowoozo ne bimwesomba, embeera bw’emubijjira n’alowooza ku kwetta.
Mu mbeera eno olina okugenda mu ddwaaliro ng’embeera tennasajjuka kutuuka ku mbeera ya kwereetako bulabe, bulemu oba n’okutta abantu abalala.
Endwadde z’emitwe endala ze twazuula mu bantu mulimu;
l Okwennyika: Twakizuula ng’abantu mukaaga ku buli 100 banyiikaavu, ate nga tebagenda mu malwaliro kufuna bujjanjabi.
l Okutya oba okutiitiira: Twasanga nga ku buli bantu 100, mwenda ku bo balina ekirwadde ky’okutiitiira.
l Abantu abakozesa omwenge: Twakizuula ng’abantu 15 ku buli 100, babeera bakozesa omwenge mu bungi ne bayita ku kipimo ekisaanide buli lunaku ekiraga nti, balina obulwadde bw’emitwe.
OBUJJANJABI OBUSOOKERWAKO
NG’OLINA EBIKUTAWAANYA MU BIROWOOZO
Toyinza kugamba nti, oli bulungi ng’olina ebikutawaanya mu birowoozo kuba obwo buba bulwadde.
Mu mbeera eno tulina okwongera okumanyisa abantu ebikwata ku bulwadde bw’omutwe obwetaaga okujjanjabwa nga bukyali.
l Ssinga obeera ng’olina okweraliikirira kwonna, beerako ne gw’oyogerako naye akuwe ku magezi naye bw’oba osazeewo okwesigaliza ensonga ekubobbya omutwe, teweesibira mu nnyumba oba tobeera wekka.
l Oyinza okwetaba mu mikolo, mu byemizannyo, genda ku mulimu, mu bifo ebisanyukirwamu oba mu ssinzizo obeereko ne banno.
l Weewale okukozesa ebitamiiza kuba byongera kukuteeka wansi ekikuleetera okwennyamira.
l Ebitucankalanya biba bingi naye omuntu bw’afuna okutya eri obulamu bwe, alina okugenda ew’omusawo ne bamukebera n’afuna obujjanjabi okutya okwo ne kuggwaawo.
l Ekirala, omuntu ng’owulira onyigirizibwa, oluusi ng’oyagala kwetta oba embeera ekulemeredde, genda ojjanjabibwe.
Nkubiriza abantu okweyunira eddwaaliro okufuna obujjanjabi ku birwadde eby’omutwe kuba tetwandyagadde kuba nga buli kiseera tujjanjaba abantu abayi, wabula nga bw’obeera ofunye omusujja, ekizimba oba ssennyiga ne weeyuna eddwaaliro, era bw’otyo bw’oba okola ng’ofunye ebikunyigiriza mu bwongo.
Biyinza okuba ebirowoozo nga weetaaga kwogerako na musawo n’akubudaabuda okusobola okuvvuunuka okunyigirizibwa kw’obeera ofunye ng’obulwadde obwo tebunnaba kukulira ddala