Abantu 150 abakola obulimu obutonotono mu Kawempe North baganyuddwa mu nteekateeka y'amaka g'obwa Pulezidenti

Abantu 150 abakola obulimu obutonotono mu Kawempe North baganyuddwa mu nteekateeka y'amaka g'obwa Pulezidenti

Abafunye ebintu nga bali mu sanyu
By Patrick Kibirango
Journalists @New Vision

ABANTU abakola emirimu gy’abulijjo mu bitundu bya Kawempe North abasoba mu 150, baganyuddwa mu nteekateeka y’amaka gw’obwa pulezidenti ey’okuyamba abakola emirimu gya wansi eya Youth Wealth Creation programme.
Abafunye ebintu kubaddeko abasiika chapati, abasiika chipusi, abakuba emberenge, abassaluuni n’abatunzi b’ebyalaani.

Ono afunye akuuma akakuba emberenge

Ono afunye akuuma akakuba emberenge


Bano baweereddwa ebintu okubadde katoni ze ngano, butto lita 20, ebyalaani bibiri buli omu eri abatunzi, zi dduulaya n'ebirala.
Bibakwasiddwa omukwanaganya wa pulogulamu eno okuva mu maka g’obwapulezidenti Faisal Ndase ku nteekateeka ebadde ku kleziaya St.Peters  Catholic Parish Kanyanya.
Pulogulamu ya Youth Wealth Creation, evujjirirwa amaka g’obwa pulezidenti okuyita mwagavunanyizibwaako Jane Barekye nga yatandikika mu 2022 era abantu abasoba mu 1000 beebakaganyurwamu.

Ndase n'abamu ku bantu abaafunye ebintu

Ndase n'abamu ku bantu abaafunye ebintu


Moses Kayiira omu ku bafunye mu nteekateeka eno asiimye gavumenti n’ategeeza nti kapito abadde mutono naye ke bafunye okubasindiikamu kuno balina esuubi nti bagenda kwongera ku nyingiza yabwe era naakubiriza abavubuka bakole ne gavumenti wejja okubasanga nga bakola ebayambe.
Ndase abafunye ebintu abalabudde obutabitunda wabula babikozese mukulwanyisa olutalo lw’obwavu