Kabaka ne Ssemakookiro bacamudde aba Zoo

Oct 31, 2022

WAABADDEWO akeetalo n’okwejjaga ku kkuumiro ly’ebisolo mu Zoo e Ntebe Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwe yagudde obugwi ng’ali n’Omulangira Richard Ssemakookiro.

NewVision Reporter
@NewVision

Kabaka abadde aludde okulabikako mu lujjudde era nga yasazzaamu n’olugendo lw’e Kyaggwe olukuza olunaku lwa Bulungibwansi nga October 8, 2022 yatuuse mu Zoo mu ssaawa ez’amalya g'ekyemisana.

Abakulira ekifo kino aba Uganda Wildlife Education Center (UWEC) baalabise nga tebeetegese wabula oluvannyuma beekwanyakwanyizza era akulira ekitongole kya UWEC, Dr. James Musinguzi ng’ali ne David Musingo baalambuzza Ssaabasajja kifo.

Aba UWEC eggulo ku Ssande baatadde ku mukutu gwa Twitter ebifaananyi by’okukyala kwa Kabaka mu Zoo kyokka omwogezi wa UWEC, Eri Ntalumbwa yategeezezza Bukedde nti wadde ng’ebifaananyi byassiddwa ku mukutu eggulo, naye Ssaabasajja mu kifo ekyo yakyalayo nga October 16, 2022.

Obugenyi bwa Kabaka buno butuukidde mu kiseera ng'ekifo kino kyeetegekera okujaguza emyaka 70 bukya kkuumiro lino litandikibwawo era ng'ebijaguzo ebikulu byakubeerawo nga December 2, 2022

Nga tannagenda ku Zoo, kigambibwa nti Kabaka yasooka ku Botanical Gardens okulaba ku miti n'obutonde obuli mu kifo kino oluvannyuma n'agenda ku UWEC ng'eno olutuuse asobodde okuliisa ku bisolo ebyenjawulo nga ku bino kuliko; entulege n'ebisolo ebirala.

Minisita w'ebyamawulire mu Buganda, Noah Kiyimba yategeezezza nga bwe kiri ekituufu Kabaka yalambudde Zoo, n’olubalama lw’ennyanja Nalubaale, era ne yeebaza nnyo abaddukanya Zoo aba Botanical Beach Hotel e Ntebe olw'okukuuma obutonde bw’ensi nga balabirira emiti.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});