Ebiragiro temubissa ku ba boodabooda bokka, n'abemmotoka bavuga bubi - Tayebwa
Nov 18, 2022
AMYUKA sipiika wa palamenti, Thomas Tayebwa ayagala mu kaweefube nga poliisi y’ebidduka efuba okulaba ng'aba boodabooda bakozesa bulungi enguudo kw'ossa n’okubeera n’ebisaanyizo ereme kubuusa maaso abavuzi b’ebidduka ebirala nga emmotoka abavugisa ekimama.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Edith Namayanja
AMYUKA sipiika wa palamenti, Thomas Tayebwa ayagala mu kaweefube nga poliisi y’ebidduka efuba okulaba ng'aba boodabooda bakozesa bulungi enguudo kw'ossa n’okubeera n’ebisaanyizo ereme kubuusa maaso abavuzi b’ebidduka ebirala nga emmotoka abavugisa ekimama.
Tayebwa okwogera bino abadde akulembeddemu abamu ku bakungubazi b’omugenzi Mark Bahati Kanagizi ng' ono abadde mukoddomi we era omuyambi we eyafiira mu kabenje ku Mmande.
Bino bibadde mu kusaba okubadde ku kkanisa ya All Saints e Nakasero.
Nnamwandu Susan Bahati Ng' Ateeka Ekimuli Ku Keesi Omugalamidde Bba.
Okusinziira ku alipoota eyasomwa mu palamenti ku bubenje, gavumenti esasaanya obukadde 236 mu kujjanjaba abantu ababeera bafunye obubenje buli lunaku era nga abantu bana be bafiira mu bubenje bwa boodabooda buli lunaku.
Ono era ye yeettise obubaka bwa sipiika wa palamenti, Anita Among, agambye nti mu kaweefube w’okulwanyisa obubenje ku nguudo, abazikoseza bonna bateekeddwa okutunuulirwa n’eriiso ejjogi.
Abamu Ku Baana B'omugenzi Nga Bakulemddwaamu Mathew Mugisha Manzi Nga Boogera Ku Kitaabwe
“ Bahati yali ku booda wabula omuvuzi w’emmotoka eyali avugisa ekimama yava mu kkubo lyateekeddwa okuyitamu n'ayingirira booda kwe yali atudde ate ng'avuga ndiima. Kyannewuunyisizza okuwulira nti ate ddereeva bamuta ku kakalu ka poliisi wabula ng' ensonga eno ngenda gigoberera nze kenyini. Bwe muba muteereza booda, n'abavuzi b’emmotoka mubatunnulirire kubanga bangi bakozesa bubi enguudo.” Tayebwa bw'ategeezezza
Minisita w'ebyamawulire n'okulungamya eggwanga, Dr. Chris Baryomunsi nga ye yeettise obubaka okuva mu gavumenti agambye nti ebiragiro ku ba booda byo biteekeddwaawo ng' ekisigadde kya poliisi n’abakulembeze okulaba nga bigobererwa wabula nga byonna webinaagaana, baakuleeta etteeka ku ba boodabooda.
Amyuka Sipiika Wa Palamenti Thomas Tayebwa Ne Mukyala We Ng' Abuuza Kw'omu Ku Bakungubazi
Baminisita Okuli; Jim Muhwezi, David Bahati Ne Chris Baryomunsi Nga Beetabye Mu Kusaba.
Akulembeddemu okusabisa era nga y’amyuka omulabirizi w’e Kampala, Rev. Hannington Mutebi asabye abakulembeze okuteeka amateeka ku ba boodabooda kubanga bbo n’obubonero by’oku nguudo tebabugoberera.
“Abakulembeze mututaase muteeke amateeka amakakali ku ba booda, bavuga bubi n'olowooza bbo bali mu nsi yaabwe, obubonero bw’oku nguudo tebabufaako. Ku bitaala bayitawo gy'oli nti tebalaba nga bibeera bibayimiriza. Bakola omulimu mulungi naye tebalina mpisa yadde akatono beetaaga okwongera okutereeza.” Rev. Mutebi bw'agambye.
No Comment