Abatwala ettaka ly’abasikawutu bongedde okulyefunza
May 03, 2025
ABAGAGGA abeesomye okumalawo ettaka ly’abasikawutu e Kaazi baziimudde ekiragiro kya minisitule y’Ebyettaka ekyasazaamu ebyapa ne bongera okusenda kumpi kulimalawo. Ku Lwokubiri ekiro, abasikawutu abasula ku ttaka lino nga balikuuma baalabidde awo ttulakita ziweetiiye ezaapangisiddwa omugagga Omar Nassolo Sekamatte nga ziddamu buto okusenda ogutundutundu ku ttaka lino.

NewVision Reporter
@NewVision

Muhammad Nkata, omu ku bakulembeze b’abasikawutu era alabirira ekifo kino
yagambye nti baateekawo bannaabwe ab’emiggo okukuuma ekifo kyonna kyokka
ku Lwokubiri nga bukya baalabidde awo nga ttulakita ziddamu okusenda ekitundu
ekyabagaanibwa.
Nkata yagambye nti beeraliikirivu kuba omugagga oyo akozesa ssente nnyingi okutuukiriza ebigendererwa bye ku ttaka lino. “Tulina ennaku nti tetuyambiddwa
kimala okulaba nga buli kimu kiyimirizibwa, tuddukidde mu buli kitongole gye
tusuubira okufuna obuyambi naye tetubufunye,” Nkata bwe yagambye.
Gye buvuddeko Kabaka Ronald Mutebi yagendako ku ttaka lino mu ngeri ey’okugwa
obugwi. Brig. Lukyamuz akulira akakiiko akavunaanyizibwa ku kunoonyereza
ku mivuyo gy’ettaka naye yagenda ne basajja be ku ttaka lye limu n’asisinkana
abasikawutu ne Sekamatt n’abaako ebiragiro bye yawa.
Polof. Badru Kateregga omu ku bakulembeze b’abasikawutu mu ggwanga
era nga y’omu ku bakuumi b’ettaka lino yategeezezza nti balina ennaku okulaba
ng’ettaka eryali liwerako yiika ezisoba mu 100 nga mu kiseera kino tewakyawerawo
wadde 10.
Kateregga yasabye Pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga z’ettaka lino
bataase ekitundu ekikyasigaddewo. Ettaka lino lyaweebwayo Ssekabaka Daudi
Chwa II eri ekibiina ky’abasikawutu era ebbanga lyonna babadde
gye bakolera emikolo gyabwe. Omumyuka wa ssentebe w’olukiiko olufuzi olw’abasikawutu Andrew Mugagga yagambye nti bakola
ekisoboka okulaba nga bataasa ettaka lino.
No Comment