OKWETOOLOOLA ensi, abantu bangi balaba abakyala ng’abantu abasaana okuyambibwa newakubadde nga waliwo abakyala abakoze ebiwuniikiriza okuli n’okukola bizinensi ennene ne bawa abantu abalala emirimu.
Ebintu bwe bibeera ku lupapula olaba nga byangu kyokka olumu bw’otuuka okubiteeka mu nkola ne bikyuka.
Abakyala basanga okusoomoozebwa kungi era okusoomoozebwa kuno gavumenti n’ebitongole bazze bakusalira amagezi.
Okunoonyereza kwa National Association of Women Business Owners, kulaga nti omwaka 2017 we gwatuukira, bizinensi ezisoba mu bukadde 11 mu America bannannyinizo baali bakazi nga bakozesa abantu abakunukkiriza obukadde mwenda.
Bizinensi nga bannannyinizo bakyala mu nsi yonna zikyali ntono era okuyambako okubasitula, wano gavumenti we yateekerawo ensawo y’abakyala eya Uganda Women Entrepreneurship Programme (UWEP) okubayambako okufuna entandikwa okwekulaakulanya.
N’ebitongole bingi ebiri mu by’ensimbi ne Bbanka ezimu nga Centenary we ziviiriddeyo n’enteekateeka nga CENTESUPAWOMAN ACCOUNT ng’etunuulidde bakyala bokka okufuna ssente nga bayita mu
kwewola awatali musingo wabula okukozesa bizinensi entono ze balina okwekulaakulanya.
Okunoonyereza kuzudde ezimu ku nsonga ezisoomooza abakyala mu bizinensi n’engeri gye bayinza okukuvvuunuka:
l Okugabanya ebiseera by’owa bizinensi n’amaka, omukyala alina bizinensi alina obuvunaanyizibwa okugiddukanya nga bw’alabirira amaka. Kiviiriddeko bangi okulemererwa okugabanya obudde ekyenkanyi bw’atunulamu nga bizinensi emusika nnyo, abamu asalawo okugita n’asigaza kulabirira ffamire era kirese bangi nga bizinensi zizing’amye ne basigala mu bwavu.
l Abamu batya okwetaba mu nkung’aana n’emisomo egiyinza okubayamba. Omukyala obeera olina okweggyamu enkola ey’okwetya. Bangi balowooza by’abasajja. Buli mukyala alina obusobozi okukola bizinensi n’eyitimuka kasita otuukiriza ebikwetaagisa era bangi abakoze emirimu ne bawangula bagamba nti okwekkiririzaamu n’okumanya nti eddoboozi lyo kkulu mu buli ekisalibwawo mu bizinensi eyo, baliko we batuuse.
l Si buli mukyala atandika nti abeera alina entandikwa kyokka si buli atandika nti alina abamuteekamu ssente. Oyo yekka akitegeera nti kizibu okutandika kyokka nga kisoboka, y’asobola okuyita ku mutendera guno. Engeri ennyangu okukivvuunuka, kwe kwekwata ku bakyala abalina kye bakozeewo ne bakuwa amagezi ku ngeri gye baakikolamu n’abamu basobola okukukwatirako ku nsimbi z’entandikwa.
l Abakyala abamu beesanga nga bali mu bifo ebibuutikiddwa abasajja. Embeera eyo olumu eviirako eddoboozi lyabwe okulwawo okuwulirwa kyokka abafubye ne balaga abalala nti nabo balina obusobozi, basobodde okuwangula.
l Abakyala abamu atandika bizinensi naye nga tayagala kuvaayo kweraga nti bizinensi yiye. Embeera eyo ebaleetera okubuutikirwa nga n’omuntu eyandimusudde omukono tasobola kumanya nnannyini bizinensi mutuufu. Bw’olemererwa okweggyayo olumu bizinensi eyinza okukulemerera.
l Funa b’okolagana nabo mu bizinensi abayinza okukuyambako okusituka. Zimba emikwano gy’okolagana nagyo mu by’emirimu. Okunoonyereza kulaga nti okulemererwa okubeera ne be weegomba oba abakuwabula kiyinza okukulemesa okugenda mu maaso. Totya kwebuuza na kuzuula kiki ddala kye weetaaga okuva mu bantu abo.
l Weewale okutya okulemerererwa nga tonnaba kutandika. Buli bizinensi esobola okulema kyokka ekyo tekisaana kukutiisa okulowooza n’okutandika okutuukiriza ebirooto ebinene by’olina. Bw’obeera olina w’olemereddwa tokitwala nti walemwa era toyinza kwongera kugenda mu maaso.
Ekigwo ekimu tekirobera baana kuzannya, situka oddemu otambule ng’oyigira ku nsobi ezisoose.
Abakikoze ne balemwa okudda mu nsobi ze baasooka bamaliriza batuuse ku biruubirirwa byabwe