Omulabirizi Dr. James Bukomeko bwe yabadde abuulira mu kkanisa mu kuteekako abaweereza ba Katonda bano mu Lutikko eya St. Abdrews -Namukozi ku Mmande, yabakuutidde okukolera mu buli mbeera ebaawo.
"Katonda abayise okumuweereza era ne mukkiriza nga muyita mu kukuba ebirayiro ," Dr.Bukomeko bwe yagambye.

Omulabirizi James Bukomeko ng’ateekako omudinkono Catherine Ssemwogerere abadde ali kugezesebwa mu kkanisa ya St. Apollo Kivebulaaya, Nnamasuba.
Yagambye mu biseera by'omu ggalo gwa Covid-19 wadde amasinzizo gaali maggale, emirimu gy'ekkanisa egimu gyasigala gitambula.
“Ebitundu ebimu eby'obulaburizi buno omuli Mubende ne Kassanda kati biri mu muggalo gwa Ebola wabula ng'emirimu gy'ekkanisa girina okusigala nga gigenda mu maaso wadde ng'amasinzo maggale,” Omulabirizi Bukomeko bwe yagambye.
Ye Rev. Deacon Catherine Ssemwogerere ng'abadde ku kugezesebwa mu kkanisa ya St.Apollo Kivebulaaya-Namasuba mu bulabirizi bw'e Namirembe yasiimye abo bonna abamusobozesezza okutuuka ku buwanguzi.