Bya Ssenabulya Baagalayina
OMUBAKA owa Kalungu East mu Paalamenti, Francis Katabaazi Katongole akulembeddemu Ssentebe wa LCV, Ahmed Nyombi Mukiibi n'owa LIII ey'e Bukulula Sulaiman Kaweesi Bazadde, n'abalala ne basaabala amazzi okwetegereza embeera abatuuze b'omu Lwera e Lukaya mu Kalungu gye balimu.
Omubaka asing'anyeyo omwana ayandayanda n'amusitulayo, era ng'abatuuze babategeezezza nti embeera ekyabasobedde nga tebalaba we baddukira..

Omubaka Wa Kalungu East Mu Paalamenti Francis Katabaazi Katongole Ng'akwasa Abamu Ku Batuuze B'e Kamuwunga Abakoseddwa Amazzi.
Omubaka Katabaazi abasaasidde olw'akatuubagiro ke batubiddemu n'abagumya nti obuzibu bwabwe agenda kubwanjula mu Paalamenti n'eri Ssaabamisita basalirwe ku magezi.
Omubaka abakwasizza obuyambi n'agamba nti ye ng'omubaka ensawo ye nfunda n'abategeeza nti agenda kubasakira mu nsawo ennene eya Gavumenti n'anenya Bannakisinde banne abeesamba obuyambi obuva mu Gavumenti ng'ate buggyibwa ku musolo gwa Bannayuganda bonna.