Bakubye ebituli mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka 2023/2024

Jan 15, 2023

Abakugu mu by'enfuna bakubye tooki mu mbalirira y’ebyensimbi ey’omwaka 2023 / 2024 ne bawabula gavumenti kuwa awasaanidde okwongera amaanyi .

NewVision Reporter
@NewVision

Bagambye nti yadde gavumenti eteesa okwongera ku ssente ezigenda okwongerwa mu bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi 2023/2024, kyannaku nti ssente ezisinga ku zino zigenda kusasula mabanja so si kukola ku bintu ebiruma abantu baabulijjo .

Mu lukungana lw’abaamawulire lwe batuuzizza omu Kampala, abakungu bano nga bali wamu ne bannakyewa abeegattira awamu mu kibiina kya Civil Society Budget Advocacy Group [CSBAG] basabye gavumenti ebeere nenkanya eyongere ssente mu pulogulaamu  ezitumbula embeera z’abakyala n’abavubuka saako n’ebyobulimi .

Jane Nalunga akulira ekitongole ky’ebyobusuubuzi ekya Seatini agambye nti yadde embalirira eno  eyogera ku by’okuddaabulula ebyenfuna naye ate bw'ogyetegereza olaba nga engabanya ya ssente tebadde ya bwenkanya kubanga ssente eziweeredwa ministule y’ebyobusuubuzi zongedde okukendeera okuva ku buwumbi 137 okudda ku buwumbi 46 , pulogulamu egatta omutindo ku by’obulimi  eya Agro Industralisation  nayo eweeredwa ssente ntono ddala , ekitongole ky’omutindo ekya UNBS kiweeredwa ssente ntono n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'amaguzi ebitundibwa wabweru ekya Uganda Export Promotion Board nakyo kifunye ssente ntono .

Nga eggwanga litunuulidde okweggya mu bwavu, Nalunga awabudde nti gavumenti esaanidde okussa ssente mu bintu ebirina okugiyambako okwongera okuyingiza ssente nga eby’obusuubuzi .

Bagamba nti ekirala ekyabeewuunyisizza kwe kulaba nga gavumenti etemye bajeti y’ebyobulambuzi okuva ku buwumbi 21 okutuuka mu buwumbi 7 so nga ate eby’obulambuzi bye bimu ku bintu gavumenti bye yandibadde eyongera okufunamu ssente singa ebeera ebivujjiridde bulungi .

Imelda Namagga omuwabuzi mu kibiina kya CSBAG ategeezezza nti baagala gavumenti etuukirize kye yasuubiza eky’okugatta ebitongole byayo ebikola emirimu nga gye gimu kiyambeko okutakkiriza nsimbi y’omuwi w’omusolo so nga ate era baagala n’emiwaatwa gyonna egibadde giviirako gavumenti okufiirwa ssente olw’abali b’enguzi giggalwe.

Dr. Obed Kambasu  omukugu mu kunoonyereza ku by’amateeka n’enkola y’emirimu mu gavumenti  yeebazizza gavumenti olw’okuleeta eby’ensoma empya n’okutumbula ebya tekinologiya mu masomero naye asabye nti mu bajeti ya Ministule y’Ebyenjigiriza eyongerwe ssente esobole okutuusa amasannyalaze mu masomero gaayo naddala agali mu byalo olwo ensomesa ya tekinologiya lw'ejja okubeera ey’omuganyulo mu masomero .

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});