ABAKOZI ba bbanka ya Uganda Development Bank (UBD) bamalirizza okusoma emisomo gy'obukulembeze obujjudde okwagala eggwanga lyabwe mu ttendekero lya National Leadership Institute (NALI) - Kyankwanzi.
Bano e Kyankwanzi bamazeeyo wiiki bbiri nga batendekebwa okubeera abakulembeze b'ebyenkulaakulana abalungi abanaayamba okukyusa Uganda mu byenfuna n'embeera z'abantu eza bulijjo.
Bano era batendekeddwa mu kuzimba obukulembeze obw'obuteebalira nga baweereza abantu, obwa mwoyogwaggwanga.

Patricia Ojangole (owookubiri ku ddyo), ng'ayaniriza omumyuka wa Pulezidenti - Jessica Alupo e Kyankwanzi. Owookusatu ku ddyo ye Felix Okoboi akulira bboodi ya UDB ne Minisita w'ebyensimbi Matia Kasaijja(ku kkono).
Eyakuliddemu omukolo guno, Omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda,Maj.(RTD) Jessica Alupo, yayozaayozezza abaasomye n'agamba nti okutendeka abantu e Kyankwanzi kuluubirira okufulumya abakulembeze abaagala eggwanga lyabwe era nga bakola okutuukiriza ebirooto byalyo, okutumbula ebyenkulaakulana n'okukuza enkola ya Demokulasiya.
Akulira UBD, Patricia Ojangole yagambye nti abakozi be baaganyuddwa nnyo mu kutendekebwa kuno era asuubira nti ba kutandikira ku kwetereeza mu ngeri gye bakolamu emirimu n'empeereza y'abantu nga bakimanyi nt buli kye bakola baweereza Uganda.