Poliisi e Kasangati ekutte difensi w’ekyalo eyatunuzza omuwala owa P7 (amannya gasirikiddwa) mu mbuga ya sitaani.

Omuwala gwe yafunyisizza olubuto.
Omwana baagenze okumulaba nga olubuto luwezezza emyezi esatu! Lawrence Lusimbo, 45, akulira ebyokwerinda ku kyalo Kibibi Lukole ekisangibwa mu ggombolola y’e Busukuna disitulikiti y’e Nansana Munisipaali yakwatiddwa oluvannyuma lw'okufunyisa omuyizi w’essomero lya New Lwoga Memorial School olubuto.Amannya g’omuyizi gasirikiddwa kyokka wa myaka 14 gyokka ng’asoma ekibiina eky'omusanvu.

Lusimbo kagwensonyi eyasobezza Ku Muwala We
Omwana ono yategeezezza nti Lusimbo azze nga amukozesa era omulundi ogwasooka yafuna olubuto kyokka n’alumuggyisaamu era abasomesa be baamukebera.
Omuwala ono yagambye nti ssinga azaala, yandyagadde okudda ku ssomero kuba Lusimbo bwe yali amukozesa yamugamba nti amuyingizzaamu ddagala.
Jajja w’omuyizi, Hadijah Nakaggwa yagambye nti muzzukulu we yamugambako ku by'okumukozesa era okutegeera nti omuzzukulu ali lubuto, abasomesa be baamuyise ne babimugamba.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango akakasizza okukwatibwa kwa Lusimbo era n’agamba nti bali mu kunoonyerezza ku nsonga zino