Eby'amabaati g’e Karamoja byongedde okulanda
Feb 28, 2023
EBY’OKUNOONYEREZA ku mabaati 12,200 agaalina okuweebwa abantu b’e Karamoja byongedde okulanda obujulizi bwe butandise okuvaayo ku banene mu gavumenti abaagaweebwa ne bagakozesa ebyabwe.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
Bya Basasi Ba Bukedde
EBY’OKUNOONYEREZA ku mabaati 12,200 agaalina okuweebwa abantu b’e Karamoja byongedde okulanda obujulizi bwe butandise okuvaayo ku banene mu gavumenti abaagaweebwa ne bagakozesa ebyabwe.
Minisita omubeezi ow’ebyensimbi, Amos Lugoloobi agambibwa nti ku mabaati 600 ge yaggya ku ofiisi ya Katikkiro wa Uganda ng’agambye nti agatutte kugagabira masomero, masinzizo n’abantu abalala abeetaaga obuyambi ate kwe yatoola n’agaseresa ebiraalo by’ente ku ffaamu ye.
Kigambibwa nti mu July w’omwaka oguwedde Lugoloobi yaweebwa amabaati 300 ne bamwongera amalala 300 nga February 1, 2023 ng’asuubizza nti wa kugagabira abeetaavu kyokka ekifaananyi Bukedde kye yasomodde okuva ku ffaamu ye e Misanga mu ggombolola y’e Bbaale e Kayunga kiraga nti amabaati gano ge yakozesa okubisereka.
Bwe weetegereza amabaati gano ku kitundu ekya wansi ekiri munda kuliko ebigambi ebiraga obulambe bwa ofiisi ya Katikkiro wa Uganda ebiraga nti ga kugaba era si ga kutunda ebigamba nti: ‘’Ofice of the Prime Minister - Uganda, Kiboko Pre-Coated Sheet PPG Gauge 28.’’
Ensonga y’amabaati eno yasajjuka wiiki nga bbiri eziyise oluvannyuma lwa poliisi okukwata abooluganda lwa Minisita w’ensonga z’e Karamoja, Maria Goretti Kitutu basatu (omwali nnyina, mwannyina ne mutabani wa muwannyina) ku bigambibwa nti baasangibwa n’amabaati ge gamu nga bagatunda mu Disitulikiti y’e Namisindwa.
Okuva olwo akakiiko ka State House Anti- Corruption Unit kaatandika okunoonyereza ku nsonga y’amabaati gano era ne kakizuula nti waliwo ne Baminisita abalala bangi abaafuna ku mabaati gano ku biragiro bya Kitutu.
Mu baayogerwako ye Minisita Lugoloobi, Minisita Rebecca Kadaga, Minisita Moriku Kaducu, Minisita Jacob Oboth Oboth, Minisita Matia Kasaija, omumyuka owookusatu owa Katikkiro wa Uganda, Rukia Nakadaama, n’abalala.
Wabula Minisita Lugoloobi yannyonnyodde New Vision nti amabaati ge yasaba gaalwawo okujja bw’atyo n’akwata agage n’agagabira abantu olwo gano bwe gavaaayo n’agakozesa okusereka ekiyumba.
BIRIMU N’EBYOBUWUMBI 39 OBW’OKUGULA EMBUZI
Eggulo akakiiko ka Palamenti ak’ensonga z’Obwapulezidenti aka Presidential Affairs Committee akakubirizibwa omubaka Jesca Ababiku (mukazi - Adijumani), kaatandise okunoonyereza ku mabaati gano n’ensaasaanya ya ssente ezaalina okugula embuzi ez’okuwa ab’e Karamoja.
Kigambibwa nti eby’okuwa ab’e Karamoja embuzi n’amabaati byava mu nsisinkano y’abakulembeze b’e Karamoja ne Pulezidenti Museveni eyaliwo nga October 6, 2021 kwe kusalawo nti Gavumenti eweeyo obuwumbi 39 ku nsonga eno.
Omubaka Remigio Achia (Pian County) eyakulembedde ababaka b’e Karamoja yategeezezza akakiiko nti buli omu yalina okufuna amabaati 26 n’embuzi 16 nga kuliko ennume emu.
ABA FDC BASABYE PALAMENTI EGGYEMU BAMINISITA OBWESIGE
Ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) kyasabye Baminisita aboogerwako mu mivuyo gy’okugabana amabaati n’okugula embuzi z’ab’e Karamoja okulekulira oba si ekyo Palamenti ebatunulemu ebaggyemu obwesige.
John Kikonyogo amyuka w’omwogezi wa FDC ye yayogedde bino bwe yabadde mu lukunga’aana lwa bannamawulire olubeerawo buli Mmande ku kitebe kyabwe e Najjanankumbi. Wabula ofiisi ya Katikkiro Nabbanja yafulumizza ekiwandiiko ekiyimiriza okugaba amabaati okutuusa ng’okunoonyereza okuliwo kuwedde.
No Comment