Gavumenti edduukiridde ab'e Kalangala abaakoseddwa omuyaga

Mar 17, 2025

GAVUMENTI edduukiridde abantu b’e Kalangala abaakoseddwa omuyaga ogw’amaanyi ogumanyiddwa nga ‘ensoke’. Guno gwasse abantu bana n’okwonoona ebintu bya bukadde.

By Samuel Nkuba
Journalist @New Vision

GAVUMENTI edduukiridde abantu b’e Kalangala abaakoseddwa omuyaga ogw’amaanyi ogumanyiddwa nga ‘ensoke’. Guno gwasse abantu bana n’okwonoona ebintu bya bukadde.

Omuyaga guno ogwakunse ku Lwomukaaga ku makya okumala eddakiika nga 30, gwagoyezza ebyalo bina ebisangibwa ku kizinga Buggala mu disitulikiti ye Kalangala.

Abaafudde kuliko; Michael Mujaasi abadde omuserikale wa poliisi ku e Kalangala, Allen Kobusingye Mukyasi, Geoffrey Ssekiwere ne Hassan Wasswa abaagwiriddwa enju mwe babeera.

Eggulo, minisita omubeezi ow’ebigwa tebiraze, Lilian Aber yagenze e Kalangala n’abasaasira era yabategeezezza nga Pulezidenti bwe yabadde amulagidde buli ffamire eyafiiriddwa omuntu okubawa obukadde 5, abantu abaafunye obuvune obw'amaanyi buli omu amuwe akakadde kamu era abawe n’amabaati g’okuddamu okuzimbisa.

Aber yagambye nti Gavumenti egenda kusindika ekibinja ky’abakugu kikole okunoonyereza ku kiviirako ‘ensoke’ era bawabule ku kiyinza okukolebwa okwewala embeera eno okuddamu okubaawo.

Omuserikale Jesca Nerima yagambye nti empewo yazze nga ya bulijjo yagenze okwetegereza ng’obuyumba bwabwe busituka bugenda mu bbanga. Yazzeemu okuwulira bannaabwe nga balaajana nti kintwala naye nga tebalina kye bayinza kuyamba.

Ensoke eno eyatandikidde ku nnyanja Nalubaale yayise mu byalo okwabadde; Mwena, Kizzi, Kalangala ne Buggala n’emenya amayumba agasukka mu 200, okwonoona emmere n’okusaanyaawo poliisi y’e Kalangala.

Omubaka mu Palamenti akiikirira Bujumba, Julius Mukasa Opondo alaajanidde Gavumenti ewe abantu abatalina ke baasigazza ebikozesebwa mu kuzimba bazzeewo amayumba gaabwe.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});