Ebikonge ebirala mu NUP byewaggudde

Apr 09, 2023

ABAKULU mu kibiina kya NUP basigadde bakuba emimiro oluvannyuma lw’ebimu ku bikonge ye balina mu disitulikiti ezenjawulo okujeemera ekibiina ne bagenda mu musomo e Kyankwanzi gye baabadde babagaanye.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAKULU mu kibiina kya NUP basigadde bakuba emimiro oluvannyuma lw’ebimu ku bikonge ye balina mu disitulikiti ezenjawulo okujeemera ekibiina ne bagenda mu musomo e Kyankwanzi gye baabadde babagaanye.
Baatuuse ku Ssande ewedde April 2 nga bakomekkereza leero (Lwakutaano).
Omusomo guno gwayitiddwa ekibiina ekigatta Gavuemnti ez’ebitundu kya Uganda Lacal Governments Association (ULGA) nga bayita bammemba baabwe n’abalala abeegattira mu Urban Authorities Association of Uganda. Baayise bassentebe ba LC5, bammeeya b’ebibuga, bammeeya ba  munisipaali, bassentebe ba LC III ne basipiika.
Ebbaluwa olwatuuse mu bakulembeze ba NUP ne batuuza olukiiko omwavudde ebbaluwa egaana abakulembeze ku mitendera egyo okugenda e Kyankwanzi kasita babeera nga beesimbirawo ku kkaadi ya kibiina kya NUP.
Mmeeya wa Kawempe, Emmanuel Sserunjogi Oweddembe, ssentebe w’abakulembeze ba NUP ku mutendera guno, ebbaluwa gye yabawandiikidde yabagaanye okulinnyayo. Yagambye nti, waliwo okunyolwa nti ebibiina bye baateekawo okuwuliziganya ate
Gavumenti eyagala kubifuula bbulooka okukola obwakayungirizi. Yabalabudde nti, bwe bagenda mu lukuhhaana luno bagenda kubakozesa nga bwe baayita abasawo ne bafundikira nga babasikirizza ne bakkiriza okuwagira enteekateeka ya Pulezidenti Museveni okwesimbawo mu 2016.
Ebbaluwa Bukedde gye yalabyeko, eriko omukono gwa Sserunjogi, ssentebe waabwe ne
Nasif Najja, Sipiika wa Wakiso era omuwandiisi w’olukiiko olugatta abakulembeze ba NUP ku mutendera guno, Baalabudde nti oyo yenna anaava ku kuwabulwa kwe babawadde n’agenda e Kyankwanzi agenda kuba alidde mu ‘situlago’ olukwe. Bino byonna nga bamaze okubifulumya, abamu ku bakulembeze byabayise ku nviiri era Sserunjogi yategeezezza Bukeddenti, be baakaksizza abaagenze e Kyankwanzi ye  Mmeeya wa Munisipaali y’e Mukono, Erisa Mukasa Nkoyooyo ne Isaaca Muwonge
omumyuka wa sipiika wa kkanso y’e Wakiso akiikirira divizoni ya Gombe.
Twakubidde Nkoyooyo essimu ng’eyitamu naye nga tagikwata eza Muwonge nga teziriiko. Guno si gwe mulundi ogusoose, omwaka oguwedde, Muwonge ye yakulembera bakkansala b’e Wakiso aba NUP okugenda mu musomo gwe baabayitamu e Garuga. Omulundi ogwo NUP yavaayo n’ebavumirira naye tewali kye baakola. Sserunjogi yagambye nti omulundi guno baafunye ebbaluw ezibayita okuva ewa minisita wa gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n’okuva mu kibiina ekibagatta.
NUP yayise abakulembeze 52 abaafuna ttikiti ya NUP ku bwa gavumenti
ezeebitundu. Baalabudde nti oyo eyalemereddwa okubeerawo nga takoze kunnyonnyola kumatiza bajja kukitwala nti ali Kyankwanzi. Sserunjogi yagambye nti oluvannyuma lw’ensisinkano eno bagenda kutuuza olukiiko bakole lipooti bagiweeyo ewa ssaabawandiisi w’ekibiina kisalewo ekiddako.
Najja yagambye nti, yategeezezza nti yasooka n’abiwulira mu hhambo nti omumyukawe yagenze n’akinoonyerezaako n’afuna obukakafu nti ddala ali Kyankwanzi. Yagambye nti ekyasinze okumukuba ewala ebbaluwa ebayita yali eyita ssentebe wa disitulikiti ne sipiika nga bw’abeera tagenze alina okutuma. Kyokka Najja yeewuunya nti, teyatuma
mumyukawe ku mukiikirira naye
yagenze.
Joel Ssennyonyi omwogezi wa NUP yategeezezza nti, bwe bavaayo balina bingi eby’okunnyonnyola kubanga ebbaluwa ezibalagira okukikola zaawedde okuteekako emikono balinze kuzibakwasa.
ABAATEGESE BAANUKUDDE
Richard Rwabuhinga, ssentebe wa disitulikiti y’e Kabarore era ssentebe wa ULGA, yategeezezza Bukedde nti baayise; bassentebe ba disitulikiti, bammeeya ba City, bammeeya ba munisipaali n’olukiiko olufuzi olw’ekibiina ekigatta basipiika mu ggwanga. ULGA bwe twali tuyita twasinziira ku ofiisi abantu ze balimu wabula si bibiina byabufuzikubanga obwetaavu bw’abantu mu masomero, amalwaliro enguudo
embi tebiriiko kibiina kya byabufuzi omuntu mwe yajjira.
Yagambye nti yeewuunya omukulembeze ali mu ofiisi eyajja okuweereza abantu ng’avumirira olukuhhaana luno.
“Olukuhhaana lumaze ennaku ttaano tufuniddemu emisomo mingi egikwata ku bukulembeze n’entambuza y’emirimu”. We twayogeredde naye ku Lwokuna ku makya yategeezezza nti, Pulezidenti Museveni gwe baabadde basuubira okuggalawo olukuhhaanga lwabwe ku Lwokuna akawungeezi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});