Eyalimbyelimbye okugulira omuwala akawale k'omunda n'amukabassanya atwaliddwa Luzira

AGAMBIBWA OKULIMBA OMUWALA OKUMUGULIRA AKAPALE N’AMUKABASANYA ASINDIKIDDWA LUZIR

Eyalimbyelimbye okugulira omuwala akawale k'omunda n'amukabassanya atwaliddwa Luzira
By Peter Ssuuna
Journalists @New Vision

OMUVUBUKA agambibwa okulimbalimba omuwala nti agenda kumugulira akapale akapya n’amukabasanya asindikiddwa e Luzira nga bw’alinda okwewozaako mu kkooti enkulu oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okukungaanya obujulizi obumusindikayo.

James Kimbugwe 21 omutuuze w’e Lubaga y’abadde avunaanibwa mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo, omulamuzi w’eddaala erisooka Adams Byarugaba n’amuwa empapula ezimusindika mu kkooti enkulu era n’amutegeeza nti si waakuddamu kulabikako mu kkooti ye.

Okusinziira ku bujulizi Caroline Mpumwire omuwaabi wa Gavumenti bwe yaleese obugenda okwesigamizibwako nga Kimbugwe avunaanibwa bulaga nti, Omuwala myaka 15 (amannya gasirikiddwa) yali agwa ensimbu ng’abeera wa Jjajawe Josephine era ng’asoma kibiina kya kusatu ye yakabasinyizibwa.

Wabula nga November 10, 2022 ku ssaawa 11 akawungeezi, omuwala ono yagenda ewa Kimbugwe okukimayo ebikebe by’okuzannyisa naye bwe yatuuka mu kazigo ke, yamugamba okujjamu akapale ng’amusuubizizza okumugulira akapya oluvannyuma naye n’ajjamu eyiye olwo n’atandika okumukozesa.

Kigambibwa nti bwe yali amutunuza mu mbuga ya sitaani, yakozesa omulawo okumunyiga obulago. Omwana yategeezezaako nnyina ng’akomyewo okuva ku mulimu era n’amunyumiza byonna nga bwe byali Kimbugwe n’akwatibwa n’atwalibwa ku Poliisi.

Omuvubuka yakeberebwa ng’omutwe gwe nga gukola bulungi oluvannyuma n’asindikibwa mu kkooti ento e Mengo nayo eyamusindise mu kkooti enkulu atandike okuwerennemba n’ogwokujjula ebitannajja.