Ab’e Nakawa bakungubagidde sipiika waabwe eyasooka Ochieng

May 11, 2023

Abatuuze ba Munisipaali y’e Nakawa bakungubagidde eyaliko Sipiika w’eggombolola eno era omumyuka  w’omuwandiisi mu offiisi y’amaka ga Pulezidenti ku nsonga z’ettaka.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision

Bya Huzaima Kaweesa ne Edward Luyimbaazi

Abatuuze ba Munisipaali y’e Nakawa bakungubagidde eyaliko Sipiika w’eggombolola eno era omumyuka  w’omuwandiisi mu offiisi y’amaka ga Pulezidenti ku nsonga z’ettaka, Edward Sunday Ochieng ne bamutendereza okubeera omukulembeze ow’okulabirako era afaayo ennyo okulaba ng’abantu baabulijjo tebanyigirizibwa.

 Okusiima kuno bakukoledde ku Munisipaali y’e Nakawa omulambo gwa Ochieng gye gwaleeteddwa okujjukira emirimu gye yakolera eggombolola y’e Nakawa  bwe yali Sipiika era kansala wa Nagulu 1 wakati wa 1998 ne 2001.Nnamwandu Sarah Ochieng (wakati) Ng' Ali N'abafamire Mu Kujjukira Omugenzi (2)

Nnamwandu Sarah Ochieng (wakati) Ng' Ali N'abafamire Mu Kujjukira Omugenzi (2)

Abakungubazi bano bakulembeddwamu Mmeeya w’e Nakawa, Paul Mugambe aboogedde ku mugenzi ng’omusajja eyali ayimirira ku kigambo kye ebbanga lyonna lye yamala mu bukulembeze.

Mugambe yategeezezza nga bwe beenyumiriza mu bukulembeze bwa Ochieng kubanga abantu abasinga mu Nakawa baayita mu mikono gye era nga bangi ku bo kati baafuuka abakulembeze ab’amaanyi mu ggwanga.

Ategeezezza nti Ochieng ng’ayita mu kuwabula kwe eri abantu, yakwata ku mbeera z’abavubuka bangi mu kitundu ekyayambako okukendeeza ku bumenyi bw’amateeka mu kitundu.

Asabye abantu bonna abali mu bukulembeze okubeeranga ekyokulabirako eri abalala naddala nga bayita mu kubatendeka.

Abamu Ku Bakulembeze Abayita Mu Mikono Gy'omugenzi Ochieng Nga Bakulembeddwa Benjamin Kalumba Nga Boogerako Eri Abakungubazi

Abamu Ku Bakulembeze Abayita Mu Mikono Gy'omugenzi Ochieng Nga Bakulembeddwa Benjamin Kalumba Nga Boogerako Eri Abakungubazi

 Emmanuel Ochieng mutabani w’omugenzi ne Nnamwandu Patience Sarah Ochieng bategeezezza ng’omugenzi bw’abadde eyagala ennyo abantu era abadde kyakulabirako kirungi eri abalala.

Emmanuel Ochieng agambye ye taata waabwe afudde talina kye bamubanja kubanga buli kimu abadde yakibakolera era tebatoma.

Ochieng yafa nga 05 May 2023 ku myaka 74 oluvannyuma lw’okutawaanyizibwa obulwadde bw’okusannyalala nga waakuziikibwa ku Lwomukaaga nga May,13, 2023 e Mulanda Tororo.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});