Abasobye mu 500 okuli n’abasibe battikidwa mu byobusuubuzi
May 26, 2025
AMYUKA akulira yunivasite y’e Makerere, Polof. Barnabas Nawangwe asabye Gavumenti okussa amaanyi mu kukola n’okuwa abantu obukugu obw’enjawulo kiyambe mu by’enkulaakulana n’okulwanyisa obwavu.

NewVision Reporter
@NewVision
AMYUKA akulira yunivasite y’e Makerere, Polof. Barnabas Nawangwe asabye Gavumenti okussa amaanyi mu kukola n’okuwa abantu obukugu obw’enjawulo kiyambe mu by’enkulaakulana n’okulwanyisa obwavu.
Abamu Ku Bayizi Abaatikkiddwa Mu Byobusuubuzi E Nakawa.
Yawadde ekyokulabirako ekya China nti bali wala nnyo mu byenkulaakulana era basobola bulungi okuggya abantu baabwe abali eyo mu bukadde 400 mu bwavu nga bayita mu kwenyigira mu byobusuubuzi n’okukola.
Yabadadde yeetabye ku matikkira ag’omulundi ogw’e 18 ag’ettendekero ly’ebyobusuubuzi erya Makerere University Business School ( MUBS ) e Nakawa. Abayizi abaasobye mu 500 be baafunye dipulooma ne satifi keeti mu masomo ag’enjawulo okwabadde ebyokubala, okutandikawo bizinensi n’amakolero amatono n’ebirala bingi.
Akulira ettendekero lino, Moses Muhwezi yategeezezza nti mu kiseera kino, essira balitadde ku kunoonyereza okulaba nga bamalawo ebizibu ebisoomooza abantu mu bulamu obwa bulijjo gamba nga ebbula ly’emirimu.
Abaafunye amabaluwa yabakuutidde okwetandikirawo emirimu n’okweyambisa emikutu gya yintanenti okutundirako ebyamaguzi byabwe. Ku bayizi abaatikkiddwa kwabaddeko n’abasibe okuva mu kkomera e Luzira.
No Comment