BBULOOGA ow’erinnya Isma Olaxes amanyiddwa nga Jjajja Iculi yagenze okutemulwa, ng’abuzaayo katono okutuukiriza ekirooto kye eky’okuzaalaayo ku mwana ow’omu ntumbwe ze, awone obulumi obumubadde ku mitima emyaka egisoba mu 50.
Eky’okuba nga Isma teyalese mwana yenna ku nsi, kye kimu ku bisinga okuluma kitaawe Hajji Muhammad Kasajja eyakazibwako erya Mutabuliiki.
Mutabuliki mu kuziika mutabani we e Nkokonjeru yayogezza nnaku nti kibi nnyo mutabani we tamulekedde muzzukulu.
ISMA LWE YANYUMYA OBULUMI BW’OBUTABA NA MWANA WUWE
Isma abadde akyogera lunye mu mikwano gye nti abasawo b’e Sweden bwe baakamutema mu 2011 nti tazaala, yagwawo n’ekigwo era yasibira mu ddwaaliro n’okufuna okubudaabudibwa kubanga kyamuleetera situleesi era kate agwe n’eddalu.
Yagambye nti okusooka yali amanyi nti alinayo ku baana kyokka abasawo bwe baamunnyonnyola ekizibu n’akakasa nti bulijjo abakazi babadde balimba mulimbe.

Taata wa Isma Olaxes ng’ayogera mu kuziika e Nkokonjeru. Yagambye nti kimuluma mutabani we obutaleka mwana ku nsi.
“Nze sizaala era bwe nakinoonyerezaako abasawo ne bahhamba nti enkwaso zange nnafu. Bankebera nkyali ku kyeyo e Sweden...,” bwe yategeeza Bukedde mu 2021 mu mboozi ey’akafubo.
Yagattako nti abasawo baamugamba nti omukyala okuzaala yeetaaga omusajja okufulumya enkwaso obukadde butaano buli mulundi kyokka ye Isma waabwe buli mulundi afulumya enkwaso obukadde busatu zokka ezitalina kye zisobola kukola ku ggi lya mukyala.
Wabula yannyonnyola nti, “ebirala ebyange byonna bikola bulungi okuggyako ekyo ky’ekinnemesa naye nfuba.” Isma bwe yategeeza Bukedde eyamusanga mu kibangirizi kya bannamakolero mu Kampala bwe yali akyali mulamu.
ENTEGEKA ISMA GY’ABADDE AKOZE OKUZAALAYO KU MWANAMikwano gya Isma egy’oku lusengere gyatageezezza Bukedde nti Isma afudde alina omusawo omukugu mu by’enzaalo gwe yabadde afunye e Makindye nga bamalirizza enteekateeka eza ssaayansi ow’ekikugu Isma mwe yabadde agenda okuyita okuzaalayo ku mwana.
“ Isma oyo afudde n’obulumi bw’obutazaala ku mwana, naye bwatyo Mukama bwe yasazeewo kubanga musajja wattu yabadde afunye omusawo era nga bakkaanyizza ku bintu bingi ebyabadde bigenda okukolebwa azaale ku mwana,” omu ku mikwano gya Isma emikyala eyasabye amannya ge okusirikirwa bwe yategeezezza Bukedde.
Mu nteekateeka eno Isma yabadde afunye omukyala nga bombi omusawo yabaggyeekoomusaayi okugwekebejja wamu n’ebitundu byabwe eby’omubiri okukakasa nti balamu era basobola okuzaala omwana omulamu.
Ekyabadde kiddako ye Isma okunoonya ssente ezigambibwa okuba doola 15,000 (mu za Uganda obukadde 60) olwo agende mu ddwaaliro n’omukyala, abasawo baggye ku Isma enkwaso n’omukazi bamuggyemu eggi, bakole ssaayansi ow’okwaluza omwana, n’oluvannyuna bamusseemu mu lubuto lw’omukazi akulire omwo. Enkola eno eyitibwa ‘In vitro fertilization’ (IVF) era esinga kukozesebwa mu bazungu abalina ebizibu ebyenjawulo mu by’okuzaala okwa bulijjo.
ABASAWO BANNYONNYODDE BW’OFUNA OMWANA1. Dr. Habert Kalema, omukugu mu by’okuzaala mu ddwaaliro lya Masaka Regional Refferal Hospital agamba nti omusajja okusobola okuzaala omubiri gwe gulina okuba nga gusobola okukola n’okufulumya enkwaso ennamu obulungi.
2. Ekirala obusajja bwo, bulina okuba nga busobola okuyimirira ne bwegolola ate ng’omala ekimusobozesa okukasuka enkwanso, kisobozese enkwaso okufuna amaanyi agawuga okutuuka ku ggi okusobozesa omwana okutondebwa.
3. Omusajja bw’aba alina obumu ku buzibu buno, yandiba omugumba era nga bino wammanga bye bimu ku biyinza okuvaako obugumba mu basajja;
l Enkwaso nga teziwera; Enkwaso ezitonda omwana zirina okubeera wakati wa 20,000,000 ne 120,000,000. Enkwaso obutawera kiba kitegeeza nti buli omusajja lw’amala, afulumya omuwendo gw’enkwaso eziri wansi wa 20,000,000.
Kyokka wadde zirina okufuluma nga nnyingo, naye ebeera enkwaso emu, bbiri oba ssatu ezisobola okutuuka mu nsi ensuubize okusobola okutonda omwana oba abaana. Kitegeeza nti ezisinga zifiira mu kkubo nga nnafu oba nga nnema.
l Nga tezirina mikira; Mulimu enkwaso ezikolebwa nga tezirina mikira. Zino nazo tezisobola kutonda mwana era zifiira mu kkubo kubanga ziba tezisobola kuwuga kutuuka ggi we liri.
l Nga zirina emitwe ebiri; Ezimu ziyinza okufuluma nga zirina emitwe ebiri, nazo zifiira wabweru kuba tezisobola kuyingira mu ggi.
l Oluusi ziyinza okuba nga ntono mu kikula; Kino kitegeeza nnafu ekitegeeza nti zikoowa mangu ekizireetera okufiira mu kkubo
Kyokka omusawo yagambye nti waliyo n’abasajja abamala empewo. Abasajja ab’ekikula kino nabo bayinza obutalaba ku ssanyu lya mwana singa ekizibu kino kiba tekinogeddwa ddagala. Obuzibu buno ebiseera ebisinga buba buzaale.