ABAKULEMBEZE b’abakyala abeegattira mu kibiina ekya National Entrepreneurs and Traders Association (NETA) bavuddeyo ku nsonga z’abasuubuzi abanyigirizibwa okuli n’abaali bakola ogw’obutembeeyi abaagobwa mu Kampala n’ebibuga ebirala mu ggwanga.
Bano nga bakulembeddwa ssentebe waabwe Catherine Rujumba bagamba nti ekiragiro kya KCCA, eky’okugoba abatembeeyi ku nguudo kyasinga kukosa bakyala, naddala bannamwandu n’abatalina basajja.

Abakyala nga baliko bye bannyonnyola
Wabula ono agamba nti yadde waliwo ebibiina,bebitongle n’enteekateeka za gavumenti ezaateekebwawo okuyamba ku bakyala naddala abalina bizinensi nga bangi tebaganyuddwamu olw’obutamanya.
Mu kuyambako mu mbeera eno bano bateeseteese olukung’aana olwa National Enterprenuers and Women Conference olugenda okubeerawo nga April 2, 2026 ku wooteeri ya GNS ku old Kampala okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa abakyala ku ngeri y’okutandika, okuzimba n’okukuuma bizinensi ssaako okunoonyeza eby’amaguzi byabwe obutale nga bayita ku mitimbagano.
Ebirala ebigenda okutunuulirwa ye ngeri gye bayinza okufunamu obuyambi okuva mu bitongole ebiwola ssente ku magoba amatono ssaako okubangulwa ku nteekateeka za gavumenti ez’okwekulaakulanya.
Olukung’aana luno lwakutambulira ku mulamwa ogugamba nti ‘’Okuggyawo emiziziko egiremesa abakazi okukola bizinensi ezivaamu ssente’’
Rujumba agambye nti abakyala bakola kya maanyi mu nkulaakulana y’eggwanga nga ssinga baba bakwatiddwako kiyamba eggwanga okukulaakulana n’okwongera ku musolo ogukung’aanyizibwa.
Alaze obwennyamivu olw’enteekateeka za gavumenti z’erina ez’okulinnyisa emisolo ku bintu ng’amafuta, butto, ssukaali, n’ebirala by’agamba nti kwe kutambulira bizinensi ze basinga okwenyigiramu.
Ayongeddeko nti abakyala bangi naddala abali mu bizinensi basanga okusoomoozebwa ne balandiroodi olw’okuteeka emikono ku ndagaano ze batategeera ekibaviiriddeko okufuna obuzibu n’agamba nti mu nteekateeka yaabwe bino byonna byakunogerwa eddagala.
Ye omwogezi w’ekibiina kino, Hajjati Halima Ddungu agamba nti obutamanya mu bakyala y’emu ku nsonga ebakuumidde emabega n’okubalemesa okuganyulwa mu nteekateeka za gavumenti okugeza eya Glow, PDM, emyoga n’ebirala.
Agambye nti olukungaana luno lw’abakyala bonna awatali kusosola mu myaka era nga baakubeera n’abakungu okuva mu bitongole eby’enjawulo.