EYAVUGANYAAKO ku ky'omubaka wa Kawempe North, Moses Nsereko avuddeyo okuvuganya ku ky'omubaka wa palamenti y'amawanga g'obuvanjuba bwa Africa.
Nsereko nga yavuganyaako ku kifo ky'omubaka wa Kawempe North mu kulonda okwali okw'okujjuza ekifo oluvannyuma lw'okufa kw'eyali omubaka Muhammad Ssegirinya kyokka n'atawangula, ayagala kya mubaka wa palamenti ya East Africa EALA.
Olwaleero Nsereko akedde ku kitebe kya NRM e Kyaddondo okulaga obwetaavu bwe ku kifo ekyo oluvannyuma lw'okulangirirwa nga bwe waliwo ebifo bibiri ebyetaaga okujjuzibwa.
Nsereko ategeezezza nga bw'alina emikwano egy’enjawulo mu NRM era nga ye nsonga lwaki yasazeewo ayitireko ku kitebe kya NRM kuba obusobozi abulina.