WASHINGTON, America
TRUMP apondoose ku by’emisolo gy’amawanga g’abazungu kyokka n’alemezaamu ku gya China nayo n’emyumyula egyayo ku America ne biwanvuwa.
Olutalo lw’ebyenfuna lwasaanikidde ensi yonna okuva omwezi guno lwe gwatandise, Pulezidenti wa America, Donald Trump n’alangirira emisolo emipya egisinga ku gyabaddewo kumpi ku mawanga gonna agasuubula n’eggwanga lye.
Ekyaddiridde nkaayana nga Trump agamba nti amawanga mu nsi gabadde ganyunyunta America naye ke kadde abasuubuzi baayo balye ku ntuuyo zaabwe ng’ayita mu nkola ey’amazima okwongeza emisolo.
Amawanga g’Abazungu naddakla ag’omukago gwa Bulaaya ne Bungereza ssaako Canada, beewuunya nga balaba America teyandibongezza misolo ng’ate bakolagana mu bintu bingi.
Agasinga gabadde gamaze enteekateeka nago okwongeza emisolo gy’ebintu America by’etundayo ate Trump ku Lwokusatu n’alangirira emisolo emipya bw’agiggyeewo ku mawanga kumpi gonna okuggyako China.
Amawanga amalala yagalese gasasule ebitundu 10 ku 100 okumala ennaku 90 nga bwe bateesa nago ku ddiiru ze bayinza okukutula mu by’obusuubuzi buli omu afunemu.
Kyokka China eyasooka okwekalakaasa nayo n’eyongeza emisolo olwa Trump eyali agyongezza ng’erina kusasula ebitundu 34 ku 100 nayo n’eyongeza mu kwesasuza, Trump yajongezza kati erina kusasula bitundu 125 ku 100.
China nayo yayongezza nga kati esasuza America ebitundu 84 ku 100 ku byamaguzi by’etundayo.
Amawulire ga China Daily gaawandiise ng’eggwanga eryo bwe litayinza kwegayirira kubanga eno bizinensi yeetaaga kukkaanya.
Luno lutalo lwa byanfuna olugenda okukosa abasuubuzi naddala abagula emigabo mu makampuni ag’amaanyi kubanga gikka olw’embeera etategeerekeka bizinensi mw’ekolerwa.
Ekibiina ky’ebyobusuubuzi eky’ensi yonna ekya World Trade Organization (WTO) kyalabudde obuzibu obugenda okubaawo ng’amawanga agakaayana ge gasinga amaanyi mu nsi mu by’obusuubuzi ekiyinza okukosa n’amawanga amalala.
Okusinziira ku mawulire ga Sky news, WTO kyalabudde nti eby’obusuubuzi wakati w’amawanga ago biyinza okukka ebitundu 80 ku 100.
Akulira ekibiina ekyo, Ngozi Okonjo-Iweala yalabudde nti, eby’obusuubuzi mu nsi yonna bisobola okuseeseetuka kubanga America ne China gokka gakola eby’obusuubuzi ebitundu 3 ku 100 ne ddiiru ezikutulwa mu nsi yonna buli lunaku.