Kyabadde kizibu nnyo omuntu eyabadde ayita okumpi n’ekibangirizi kya bannakatemba ekya National theatre mu Kampala okukkiriza nti waliwo olumbe, ng’era bangi abaayiseewo babadde beewuunya omuntu ategese ekivvulu ku Monday kye yeesize.
Ssenga Justine Nantume Naye Yabaddeyo Nnyo Mu Kukungubaga.
Olumbe lwa Kato Lubwama lwafuuse kivvulu ekiwedde emirimu era bakira abakungubazi batuuka nga bwe balaba ku bayimbi baabwe ku siteegi nga babasalako. Bangi beerabidde n’okukubagiza abaafiirwa ne badda mu kusaba abayimbi baabwe ennyimba ze baagala.
Ssanduuke Omwabadde Omulambo Gw'omugenzi Ku National Theatre.
Abayimbi, bannakatemba, bakazannyirizi, abazinnyi ne bassereebu ab’enjawulo tebaatenguye bawagizi baabwe ng’era baabakoledde kye basinga okwagala nga bwe gutuuka ku bayimbi abadigize manya abakungubazi bawoggana ennyimba ze baagala okubayimbira.
Rebecca Jingo Ng'azina Ku Siteegi Mu Lumbe.
Bakira obwedda MC buli lw’abaako ky’ategeeza abakungubazi nga bamutegeeza nti batuukiriza ddaame lya mugenzi era ne bamusaba abaleetere anaabasanyusa okusinga okubabowa nti era waakiri aleete Kenzo oba Sheebah.
Omuziki mu lumbe gwakutte bangi omubabiro nga guno gwasituddde n’ababaka abamu ne balinnya siteegi.
Abakungubazi Nga Balinga Be Balungidde Chai W'enjaaye!
Om uku babaka, akiikirira Kalungu west, Joseph Gonzaga Ssewungu yakutte omuzindaalo n’ayimba ennyimba za ba Congo ezaacamudde bangi n’atuuka n’okubuuka ku siteegi ng’oyinza okulowooza nti Mudra Mudra ali mu mbuutu ya mbuutikizi eya Bukedde.
Maama Nandujja Ne Halima Namakula Nga Babiibyamu Ku Lumbe.
Ye Owa Kampala Central, Muhammad Nsereko yejjusizza ekyamututte ku siteegi kubanga abayimbi okwabadde Sheebah , Tina tine, ne Rita de dancer bamufunzizza ne bamuzinisa amazina agaamwerabizza nti Ali mu lumbe lwa mukwano gwe Kato Lubwama.
Ennamusa yatuuse ku nyooge mwana mulenzi Omutume Planet eyayimba chai w’enjaye bwe yalinye ku siteegi. Gerald Kiweewa Naye Yakungubaze Bambi.
Ono olwatandise nti “ffe tuli eno kulumbe”, abadigize, ee..manya abakungubazi ne baddamu nga basaakaanya nti “omwana yalunze chai w’enjaaye” olwo ne bazina amazina, saako n’okusuukunda omwenge nga bwe beewozaako nti bw’atyo omugenzi bwe yalaama era bo nti batuukiriza kiraamo.
Hajji Ashraf Ssemwogerere Ne Banne Nabo Tebaalutumidde Mwana.
Omugenzi Kato Lubwama yalaama nti abanaaba ku lumbe lwe tebalina kumukaabira wabula basanyuje, bbandi zikube ng’eno abayimbi bwe bayimba.