Kkondo bamuggye mu kkomera n’awa obujulizi mu gwa Naggirinya
Jun 18, 2023
OMUBBI kkondo agambibwa nti ye yalukira omusibe Copoliyamu Kasolo ne banne ddiiru y’okuwamba Naggirinya bamubbeko ssente yaggyiddwa mu kkomera e Luzira n’aleetebwa mu kkooti enkulu okuwa obujulizi.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUBBI kkondo agambibwa nti ye yalukira omusibe Copoliyamu Kasolo ne banne ddiiru y’okuwamba Naggirinya bamubbeko ssente yaggyiddwa mu kkomera e Luzira n’aleetebwa mu kkooti enkulu okuwa obujulizi.
Teo Ndoleyahwo yasibwa myaka 25 mu kkomera olw’obwakkondo. Kigambibwa nti Kasolo ne Sadat Kateregga bwe baali mu kkomera ku misango gy’obubbi baakwatagana naye n’abasomera ddiiru y’okuwamba Naggirinya, bwe baavaayo ne batandika okumulondoola okutuusa lwe baamuwambira e Lungujja ng’alinda okumuggulira ggeeti nga August 28, 2019. Baamutwala e Nama - Mukono gye baamuttira ne ddereeva we Ronald Kitayimbwa oluvannyuma lw’okubabbako amasimu ne ssente enkalu.
Ndoleyahwo yaleeteddwa oluvannyuma lwa Kateregga okutegeeza nti ye mujulizi gw’alina agenda okumuwolereza.
Bwe yatuusiddwa mu kkooti ng’abuuzibwa akana n’akataano ku nkolagana ye n’abavunaanibwa yategeezezza Omulamuzi Isaac Muwata nti ng’oggyeeko eky’okubeera nti bonna bakuumibwa mu kkomera lya Luzira Upper (awali abatemu) n’okubeera nga y’akulira waadi mwe basula, talina nkolagana ndala yonna nabo era yali tabamanyi. Ndoleyahwo yagambye nti; Simanyi ngeri gye bannyingiza mu musango gw’okutta Naggirinya kubanga nange ndi muzadde. Ebbanga ery’emyaka 10 lyembadde mu kkomera (okuva May 2014 ) nsuubira Naggirinya mba namuleka ng’akyali muwala muto nga n’omulimu talina, kati mbeera ntya nga mbadde mu kkomera ate ne manya n’ebimufaako okutuuka okufuna abaamuwamba. Yagambye nti Naggirinya yali tamumanyi era ebifa ku mugenzi n’engeri gye yattibwamu naye abirabira ku ttivvi n’okubisomera ku mpapula z’amawulire. Ndoleyahwo ye yabadde omujulizi w’abavunaanibwa asembayo era kkooti yafundikidde okuwulira obujulizi okuva ku njuyi zombi. Abavunaanibwa musango guno bali mukaaga nga bakulemberwa Kasolo, Kateregga, Johnson Lubega, Nasif Kalyango, Sharif Mpanga ne Hassan Kisekka.
No Comment