Eyeeyise mutabani wa Aponye omukulu akubye emmeeza lwa banne kumuboola: Ayagala bagende ku DNA

WABALUSEEWO okusika omuguwa mu famiire y’omugagga Apollo Nyegamehe amanyiddwa nga Aponye oluvannyuma lw'agambibwa okubeera mutabani we omukulu okwesowolayo n'akukkulumira ffamiire ya Aponye okumwegaana nga bwe batamumanyi. 

Eyeeyise mutabani wa Aponye omukulu akubye emmeeza lwa banne kumuboola: Ayagala bagende ku DNA
By Ponsiano Nsimbi
Journalists @New Vision

WABALUSEEWO okusika omuguwa mu famiire y’omugagga Apollo Nyegamehe amanyiddwa nga Aponye oluvannyuma lw'agambibwa okubeera mutabani we omukulu okwesowolayo n'akukkulumira ffamiire ya Aponye okumwegaana nga bwe batamumanyi. 

Bruce Kayumbu 45, okuvaayo kyaddiridde Harold Byamugisha mutabani wa Aponye era akulira kkampuni ya Aponye Uganda Ltd, okuvaayo mu lujjudde ku Ssande e Lubowa mu maka gw’omugenzi n'ategeeza abakungubazi nga bwe batasuubira muntu yenna ku beerimbikamu nti mwana wa kitaabwe. 

Wakati mu koogerako eri abakungubazi abakung'aanidde mu maka gw’omugenzi e Lubowa Byamugisha eyalondeddwa okwogera ku lwa bamulekwa yasoose kulagira baganda be okwepanga okusinziira ku buzaale bwabwe era olwakimaze n'awa buli omu omuzindalo okweyanjula olwaweddeyo n'abalagira okuddayo n'atandika okwogera kwe. 

Ono eyabadde omumalirivu ennyo yakikkaatiriza nti abaana ba kitaawe ab’omuntubwe bali 12, bokka olwo abakungubazi ne bawunikirira nga balinda ekiddako. 

KAYUMBU ANNYONNYOLA 

Kayumbu yategeezezza nti olwafunye amawulire gw’okufa kwa kitaawe yasitukiddemu okuva e Masindi gy'abeera okutuuka e Lubowa okwetaba mu lumbe lwa kitaawe era yatuukiridde baganda be okuli Byamugisha okumubuzaako n’abalala kyokka yeewunyiza okulaba nga bwe batuuse okwanjula bamulekwa ye baamulese ebali ate ne bateekawo nakakwakulizo ku muwendo gwa bamulekwa. 

Kayumbu y’omu ku bakungubazi abeetabye mu mmisa e Lubaga okusibula kitaawe kyokka yadde bamulekwa babadde banekedde mu ngoye ezifaanagana ye yabadde yefaanana yekka. 

Ono yannyonnyodde nti ye mwana wa Aponye omukulu era yazaalibwa omu mu nnyina Peace Musinguzi omutuuze w'e Muhanga Rukiga. 

Yagambye nti kitaawe yali amuweerera kyokka n'alekera ekyamuviriko obutasobola kusoma kumalako nga yakoma mu S.2, era wano ennaku gy'alimu we yatandikira.

Bwe yabuuziddwa obuzibu we bwava yategeezezza nti waliwo obutakkaanya wakati wa famiire ya nnyina ne Aponye olw’enjawukana mu ddiini. 

 

Yagambye nti Jjajjaawe azaala nnyina yali mubuulizi mu kkanisa era olwakitegera nti omusajja afunyisizza muzzukulu we olubuto Mukatuliki n'anyiiga nnyo n'amugaana okumufumbirwa. 

Ono yagambye nti bwe yamala eky’omusanvu nnyina yamutwala ewa kitawe (Aponye) asobole okumuweerera mu Ssiniya kyokka olw’okutya okunyiiza mukyala we ow’empeta, Aponye yamutwala ewa jjajjaawe Solome Kibatenga e Muhanga kyokka ng’omubuyambi okutuusa mu S.2 Jjajja lwe yafa ookuva olwo embeera n'emutabukako n'asalawo okuva mu maka gano. 

Yagambye nti mwetegefu okutwalibwa ku musaayi okuggyawo ebigambibwa nti yandiba nga waliwo abamuli emabega okuswaza ffamiire ya Aponye. 

MAAMA WAAKAYUMBU ANYONNYODDE 

Peace Musinguzi maama wa Kayumba yategeezezza nti Aponye yamufunyisa olubuto ku myaka 16 ng’ali ku p.7 nazaala omwana ono kyokka olwokuba Jjajja we yali mubuulizi yamugana okufumbirwa omusajja atali mukristaayo ekyanyiza Aponye namukyawa n’omwana we era nagana okubawa obuyambi. 

Yagambye nti Kayumba yamuzaala mu 1978, ekitegeza nti ono kati alin emyaka 45. 

ayagala okumanyisa abakungubazi nti abaana nyina beyajja nabo mu bufumbo kitaabwe siyabazaala yadde abadde abalabirala ng’abaana be. 

Ono yeyamye ng’aliwamu ne banne okukuuma omukululo kitaabwe gwalese era nasaba abo bonna babadde akolegana ne kitaabwe nabo okusigala nga batambula nabo. 

Wabula ebigambo bya Byamugisha tebysanyusizza nyina Vangilsta Nyegamehe era ono ne bwe yabadde mu lutikko e Lubaga yazemu okukikatiriza ng’omugenzi bwabadde tasosola mu baana be era nabasaba okutambulira awamu nasuubiza n’okutambula nabo mu mbeera zonna. 

Aponye yafiira mu Kabenje ku Lwokuna bweyali agenda e Kabale okuziika mmotoka mweyali atambulira ne banne bwe yatomera loole eyali efiiridde ku kkubo ku kyalo Itojo e Ntungamo,ngo aziikibwa leero mu maka ge Muhanga.