kamiisoma agugumbudde abayizi olw'okuggwamu ensa
Jul 25, 2023
Kamiisona avunaanyizibwa ku nsonga z’abavubuka n’abaana mu minisitule y’ekikula ky’abantu, Mondo Kyateeka agugumbudde abakulembeze b’abayizi mu yunivaasite okwetooloola eggwanga, b’agamba nti ab’ennaku zino baweddemu ensa, okusinziira ku baaliwo ebiseera eby’emabega, nga kati bangi bakulembeza nnyo ensimbi nti wezitali tebalina kye bayinza kukola, ekiviiriddeko eggwanga okufuna abakulembeze ab’ekiboggwe.

NewVision Reporter
@NewVision
Kamiisona avunaanyizibwa ku nsonga z’abavubuka n’abaana mu minisitule y’ekikula ky’abantu, Mondo Kyateeka agugumbudde abakulembeze b’abayizi mu yunivaasite okwetooloola eggwanga, b’agamba nti ab’ennaku zino baweddemu ensa, okusinziira ku baaliwo ebiseera eby’emabega, nga kati bangi bakulembeza nnyo ensimbi nti wezitali tebalina kye bayinza kukola, ekiviiriddeko eggwanga okufuna abakulembeze ab’ekiboggwe.
Bino abyogeredde mu kuggulawo olukungaana lw’okubangula abakulembeze b’abayizi okuva mu matendekero ag’enjawulo okwetooloola eggwanga, nga luyindira ku wooteri eyitibwa Protea mu Kampala.
Kyateeka agambye nti abakulembeze b’edda baali ba maanyi naddala abaava mu yunivaasite e Makerere nga Nobert Mao, omugenzi Jacob Oulanyah eyali sipiika wa paalamenti, omugenzi Noble Mayombo, n’abalala, nga baayimiriranga okwongera, ne bafaananira ddala obuvunaanyizibwa bwe baalimu, ekitali ku baliwo ensangi zino, b’asabye okwetereeza, okusobola okufuuka abakulembeze abalungi.
“ Nze we nnasomera e Makerere, twalina Nobert Mao ng’omukulembeze waffe, nga sipiika ye mugenzi Jacob Oulanyah, kyokka nga buli omu w’asituka okwogera toyagala amale, kubanga baatwalanga obudde okutegeera ebifo mwe bali, nga basoma nnyo ebitabo, ekitali ku b’ensangi zino” Kyateeka bwe yategeezezza.
Yasabye abavubuka okwongera okujjumbira obukulembeze bwabwe ku byalo, kubanga nabwo bukola kinene mu kuzimba obukulembeze obuddako.
Dr. Nansozi Muwanga, akulira ekifo ekiyitibwa Julius Nyerere Leadership Center ku yunivaasite e Makerere yagambye nti essira bagenda kuliteeka ku kuyigiriza abakulembeze olulimi oluswayiri, nga y’engeri yokka ejja okubasobozesa okwogera eddoboozi limu.
Yasuubizza nti enteekateeka gye baliko ejja kuyamba okubangula abakulembeze b’abayizi, nga beefumiitiriza ku mukululo ogwalekebwawo omugenzi Julius Nyerere eyali omukulembeze wa Tanzania, eyasoosowaza okwogera oluswayiri mu ggwanga lye, ekiritadde ku ddaala eddala.
Ye Polofeesa Julius Kiiza, omusomesa mu by’obukulembeze e Makerere yasabye abayizi obutakulembeza nsimbi, kubanga waliwo bye bayinza okukola we zitali, naddala okukunga bannaabwe, okutondawo emikago, n’ebirala bingi.
Kevin Mugabi, omu ku bakulembeze b’abayizi e Makerere yagambye nti ekibakola obubi kwe kuba nti n’abakulembeze b’ennaku zino tebakyawa kifaananyi kirungi eri abakulembeze abato, ekittattanye erinnya lyabwe, n’obukulembeze mu ggwanga. Yagambye nti kino bwe kinaatereezebwa, Uganda yaakugenda mu maaso.
Olukungaana lwetabiddwamu abakulembeze b'abayizi okuva mu yunivaasite okuli Makerere, Kyambogo, Busitema, n'endala nnyingi, nga lwa kumala ennaku ttaano
No Comment