Amawulire

Abadde yeefudde omulalu bamukwatidde mu kikomera ng'abba!

Abakulembeze ku kyalo Kito e Matugga mu ggombolola y’e Gombe mu munisipaali Nansana Munisipaali baliko omuvubuuka gwe bataasizza ku batuuze ababadde bagaala okumutta

Abadde yeefudde omulalu bamukwatidde mu kikomera ng'abba!
By: Wasswa Ssentongo, Journalists @New Vision

Abakulembeze ku kyalo Kito e Matugga mu ggombolola y’e Gombe mu munisipaali Nansana Munisipaali baliko omuvubuuka gwe bataasizza ku batuuze ababadde bagaala okumutta.

 

Kigambibwa nti ono abadde yeefuula omulalu n'ayingirira amayumba ga batuuze n'abanyaga ebintu by'omu nnyumba.

Akwatiddwa ye Moses Senyonyi 33, nga bulijjo abatuuze bamuyita mulalu kyokka nga abadde abayingirira mu nnyumba zaabwe nababba.

Ono okukwatibwa kyaddiridde okuyingirira ekikomera omuli ennyumba za bapangisa n’amenya kkufulu ebadde ku luggyi.

Ssennyonyi bw’ayingidde Munda abuuse kikomera wabula ogumu ku muzigo gubaddemu omupangisa eyabadde tagenze kukola nga Ssennyonyi abadde amanyi nti tewali aliwo ng’ono amulinze n’amenya kkufulu era abadde afuluma ne ttivvi ne bamukwata olwo ne batandika okumukuba.

Abakulembeze ababadde bakulembeddwa atwala ebyokwerinda ku kyalo Peter Kanyike bazze ne bamutaasa wabula bagenze okutuuka nga yenna atonnya musaayi.

Abatuuze bategeezezza nga obubbi bwe bubadde bususse nga Ssennyonyi bulijjo bamuyita mulalu nga tebamanyi nti yababba.

Difensi Kanyiike yasabye abatuuze okubeera abeegendereza ku bantu abeeyita abalamu baleme kubeesembereza kuba abamu babeera balina ebigendererwa byabwe. Ono bamututte ku poliisi y’e Matugga ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

 

Tags:
Amawulire
Bubbi
Kikomera