Amawulire

Pulezidenti Museveni agenda kusiibulula Abasiraamu  abasukka 50,000 okwetoloola Kampala ku lwokubiri

PULEZIDENTI Museveni enkya wakusibulula abasiraamu  aba bulijjo abasukka 50,000. okwetololola Kampala yenna n’e miriraano omuli aba bboda boda , takisi, obutale, Ghetto n’abagwa mu koowe eryo abalala.     

Hadijah Namyalo ng'annyonnyola ku nteekateeka za Pulezidenti Museveni ez'okusiibula Abasiraamu
By: Joseph Mutebi, Journalists @New Vision

PULEZIDENTI Museveni ku lwokubiri agenda kusiibulula abasiraamu  aba bulijjo abasukka 50,000. okwetololola Kampala yenna n’e miriraano omuli aba bboda boda , takisi, obutale, Ghetto n’abagwa mu koowe eryo abalala

Museveni okuvaayo ku mulundi guno okusibulula abasiraamu aba wansi kiddiridde Bann- Kampala ab’enjawulo okutukkirira akulira offiisi ya  ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjat Hadijah Namyalo Uzeiye ne bamusaba abagambire ku Museveni nti nabo wadde bantu ba wansi naye bazze nga bamuwa akalulu kyokka bwe batuuka ku kusibulula abasiraamu ayita bagagga bokka mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebbe.

Akulira office ya ssentebe wa NRM Hadijah Namyalo ng'ayogera mu lukiiko lw'abannamawulire

Akulira office ya ssentebe wa NRM Hadijah Namyalo ng'ayogera mu lukiiko lw'abannamawulire

 Ku Weekendi Hajjat Namyalo ng’ali wamu n’aba Salaamu bank ne Tamini General Insurance abagenda okiyambaako okwongera ensimbi mu mukolo guno okuva ku Pulezidenti Museveni zataddemu basinzidde mu lukungaana lw’abamawulire ku offiisi ye e Kyambogo ne bayita buli Munna- Kampala n’emiriraano okuggya ku Lwokubiri ku kisaawe kya ‘Millenium Grounds’  e Lugogo nga March/03/2026  oba oli musiraamu oba toli musiraamu Pulezidenti Museveni abasiibulule ssaako n’okubaawa ettu eddala ly’agenda okubettikira.

       Namyalo yagambye nti Museveni agenda kusibulula abasiraamu bano okuva mu Kampala n’emiriraano omutwaliramu ebitundu okuli Kampala, Mukono, Kayunga, Wakiso ne Mpigi nga abantu abakola emirimu egy’enjawulo omuli abomu butale, aba bboda boda, ba ddereeva ne ba kondakita ba takisi , aba Ghetto n’abantu ba bulijjo bonna abanasobola okwetaba ku mukolo guno nga tegwetagisa kaadi yonna okuyingira kasita ab’e byokwerinda bakukebeera.

      Yagambye nti enkola ya yinsuwa eno egenda kuyamba nnyo n’omuntu owa bulijjo okumanya nti alina okukuuma byakoze ng’omulamwa gwa gw’ekibiina kya NRM pulezidenti Museveni gwe yatambulirakoku mulundi guno  ng’anoonya akalulu keyakawangulira waggulu era nga ne kkooti yamutongozezza.

    Ku mukolo guno Museveni kwasibirwa okutongoza yinsuwa empya etabadde mu ggwanga

gye bayita ‘Tamini General Insurance’  erina enkola ey’anjawulo  nga yo bw’oteekaayo emmaali yo mu yinsuwa eno omwaka ne guggwako nga mugabaana

amagoba ssente gezikoze.

Hadijah Namyalo ng'annyonnyola

Hadijah Namyalo ng'annyonnyola

        Namyalo yagambye nti abantu abannaku bazze bafiirwa ebintu byabwe omuli okwokebwa ebintu byabwe mu butale, akeedi , mu maka , booda boda ne takisi okugwa ku bubenje , amataaba mu kibuga ng’agali ku Nakivubo Channel, KCCA  okuwamba emmaali y’abasuubuzi ne bagifiirwa ne kalonda omulala kyokka nga bannannyini byo baabadde batya okubiteeka mu yinsuwa yonna kubanga eziriwo balowooza nti z’abagagga bokka ekintu aba ‘Tamini general Insurance’ kye basaalidde amagezi.

         Ye nsonga lwaki Namyalo yatukkiridde aba Salaam Bank abawoola ssente ezitaliiko magoba ne bakkiriza okuleeta yinsuwa eno eya  ‘Tamini General Insurance’ ng’omuntu yenna anateekangaayo ekintu kye ne kitafuna kabenje konna omwaka okuggwako oba ebbanga lye munabeera mutesezza nga mugabaana abagoba ssente gezinabeera zikoze.

       Kino kiggya kuyamba bannayuganda okukomya okwekwasa nga buli kabenje akabaguddeko nti Museveni gyangu otuyambe bwakerewamu ne bagamba nti tabayambye.

      Namyalo yagambye nti Museveni ya mussanyusse nnyo okulaba nga yinsuwa eno tesoola ddiini yonna kyokka ng’ate egenda kuyamba n’omuntu wa bulijjo era n’ab’ekitongole ekivunannyizibwa okulungamya yinsuwa zonna mu Uganda ekya “Uganda Regulatory Authority’  nga March/03/2026 bagenda kubeerawo.

      Akulira ‘Tamini General Insurance’,  Mohamud .M .Omar  yagambye nti  nga November/26 /252025 ekitongole ekirungamya yinsuwa mu Uganda ekya Uganda Insurance Regulatory Authority lwe baabatongoza yinsuwa yabwe nga baluganda ne Salaamu Bank,  Era mu Afrika bali mu nsi ya Kenya ne Djibouti kati bagasseko Uganda.

            Yagambye nti ensuwa eno yanjawulo etambulira ku mateeka ga ‘Sharia’ era nga batunnulira bizinensi ezo zokka zitalimu kulyazamaanya na bukuusa.

Hadijah Namyalo ng'annyonnyola enteekateeka za Pulezidenti ez'okusiibula Abasiraamu

Hadijah Namyalo ng'annyonnyola enteekateeka za Pulezidenti ez'okusiibula Abasiraamu

        Yagumiza bannayuganda nti bazze okulaba nga bayamba abo abantu ba bulijjo abaabadde balowooza nti tebasobola kwenyigira mu kuteeka mmaali yaabwe mu yinsuwa gattako n’abasiraamu abaabadde batya okuteeka ssente zabwe mu bintu ebiriiko ssente za libba.

    “Ekirubirirwa kyaffe tetugenderera kufuna magoba ku muntu yenna wabula twagala okulaba nga abantu ba bulijjo nabo baganyulwa mu yinsuwa eno ne basobola okukuuma bizinensi zabwe” Mohamud M Omar bweyategezezza.

Edrisa Magala Ssesanga akulira abasiraamu mu disitulikiti y’e Wakiso wansi w’ekibiina kya “Wakiso Muslim Community” yagambye nti abasiraamu bonna kye kiseera okulaba nga tebaddayo kufiirwa mmaali yabwe nga batya nti yinsuwa eziriwo za bagagga bokka ng’ate Tamini Genaral Insurance’ ezze okubaggyako ennaku