LABA laavu bwe yamezze omuyaga El Mencho ensi gw’ebadde etya n’emuggya gy’abadde yeekukumye emyaka 15 n’attibwa ng’azze okulaba ku muganzi we.
Amawanga nga gakulembeddwa America gabadde gamaze emyaka 15 nga gamunoonya n’abula. America yamuteekako obukadde bwa doola 15, mu za Uganda 53,756,085,000/- era n’abula olw’ebuziizi gy’abadde yeekukuma nga tatuukibwako.
Yeekwese bambega ab’omutawaana, aba CIA abakettera America ebweru waayo, ne yeekweka ab’eggye lya bakomando ba Mexico, ne yeekweka ab’ekitongole kya US Drug Enforcement Administration (DEA) ekirwanyisa abayaga mu America okutuusa omukwano gwa muganziwe, Guadalupe Moreno Carrillo lwe gwamulinnye n’amubuuza w’ali basisinkane ne ‘kaggwaamu’ nga enjogera bw’eri.
El Mencho abadde tatuukikako, takwatibwako, ssente emuyitaba era ng’asimattuse ppulaani z’amagye agasinga amaanyi mu nsi okumutta. Essaawa 24 zokka ze yamaze ne Moreno ku kaalo Tapalpa, zaamumaze okuweebwayo n’attibwa mu lutalo olwabadde nga ffirimu.
Amawulire ga FilmoGaz mu Bulaaya, gaalaze engeri okunoonyereza kwa Gavumenti ya Mexico eyamusse ng’eyambibwako abakessi ba CIA bwe baazuula El Mencho ng’alina omukazi gw’ayagala.
Yali October wa 2022 ne wabaawo ebiwandiiko ebyekusifu ebyasomolwa ekitongole kya Mexico National Defense (Sedena), bye baatuuma Guacamaya Leaks, ebyalaga El Mencho ng’ayagala nnyo omukyala oyo.
Okukolagana kwabwe kwalaga nti, kwajjawo ng’omuyaga oyo amaze okwawukana ne mukyala we Rosalinda Gonzalez Valencia, eyali akwatiddwa mu November wa 2021. Oyo naye yayoolebwa lwa njaga El Mencho n’amusikiza Moreno eyayanguyizza olukwe olumutta. Wadde ng’abamu bagamba nti, Moreno talina kakwate ku
kuttibwa kwa El Mencho, waliwo abalumiriza nti ssente America ze yateekawo eri amulabyeko, zaamutengudde emmeeme n’amuwaayo yeefunire omutete.
Moreno atemera wakati w’emyaka 50 ne 55, agambibwa nti abadde talina kinene ky’amanyikiddwaako kyokka ng’atera okufuna obudde n’agenda mu bifo ebiteeberezebwa okuba nga bikuumibwa butiribiri ng’ababeerayo tebabeera na masimu.
Okwewala ssimu, kitegeeza kwewala baabyakwerinda kukunoonyerezaako era kino nakyo okusinziira ku minisita wa Mexico ow’ebyokwerinda, Ricardo Trevilla Trejo kyabawa okukakasa nti, yandiba ng’abeera agenze kulaba ku El Mencho.
Mu kwerinda okw’amaanyi, bambega baalinnye Moreno akagere nga w’akiggya we bakizza okutuusa ku wiikendi lwe yatuuse mu bisozisozi by’akatawuni ka Tapalpa, olutalo kakuuse gye lwabalukidde. Wadde Moreno asobola okuba nga naye yabadde mu lukwe nga yasoose kutegeeza baabyakwerinda nti agenda kusisinkana El Mencho mu kifo ekyo, naye kennyini ate abadde n’abamubega nga takimanyi.
Kino kibadde bwe kityo ssinga atuuka ku muganzi we oyo ate naye omukwano ne gumulinnya n’agaana okumuwaayo ng’ate amulabyeko. Ekyo era kiri bwe kityo kubanga n’ababadde baagala ssente ziri doola obukadde 15, babadde bangi.
ENGERI OMUYAGA GYE YEEYITIDDE MUGANZI WE EYAMUWADDEYO
Omuyaga ono ku Lwomukaaga yayise Moreno beeweemu mu kitundu ky’empuku ezimu gy’abadde yeekukuma. Kigambibwa nti, ababaka b’omuyaga ono bwe baaleetedde Moreno obubaka nti munne amwetaaga, kwe kutemya ku bakomando abamunoonya bamugoberere gy’anaasula, omuyaga gwe banoonya, eyo gy’ali era bwe kyabadde.
Baamaze bombi essaawa 24 okutuuka ku Ssande ku makya era Moreno bye yagabudde El Mencho bye byasembye anti yagudde mu mbi z’abaabadde bamaze emyaka 15 nga bamunoonya ne bamutta mu lutalo olwavuddeko abayaga okwekalakaasa.
El Mencho bwe yamaze ebibye ne Moreno omwabadde n’okulya ekyenkya, omuyaga oyo ye yasoose okuva awaka agende ku kisaawe ky’ennyonyi nga yeebuzaabuza okuwuddiisa abeebyokwerinda nga tamanyi nti baabadde baamulinze dda.
Omuwala tewali amanyi gy’ali kyokka kigambibwa nti yeetegudde ali mitala w’amayanja. Kyokka waliwo omuwala omulala omubalagavu e Mexico ayitibwa Maria Julissa, eyasoose okulowoozebwa nti ye yavuddeko okuttibwa kwa El Mencho. Oluvannyuma lw’amawulire okusaasaana ku mikutu gy’eyo egya yintanenti, yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa Instagram nti si ye ye n’ebyogerwako talina ky’abimanyiiko.