Olukung'aana lw'emmwaanyi lugguddwao leero e Munyonyo

Aug 08, 2023

OLWALEERO Uganda ekyazizza abakungu ab'enjawulo okuva ku lukalu lw'Africa abalima emmwanyi mu lukung'aana olutuumiddwa G-25 African Coffee Summit e Munyonyo

NewVision Reporter
@NewVision
OLWALEERO Uganda ekyazizza abakungu ab'enjawulo okuva ku lukalu lw'Africa abalima emmwanyi mu lukung'aana olutuumiddwa G-25 African Coffee Summit e Munyonyo.
Olukung'aana lugguddwawo Pulezidenti  Museveni wansi w'omulamwa okukyusa ekitongole nga tuyita mu kuzongerako omutindo mu Africa (Transforming the African Coffee Sector Through Value Addition).
Mininsita w'ebyobulimi Frank Tumwebaze ng'ali n'abakungu abalala

Mininsita w'ebyobulimi Frank Tumwebaze ng'ali n'abakungu abalala

 
Uganda egenda kweyambisa olukung'aana lw'omulundi guno okunyweeza okutumbula obusuubuzi bw'emwaanyi naddala ezo ezirimibwa mu ggwanga wamu n'okunnyweeza enkolagana n'amawanga agali mu mukago okusalira awamu amagezi ku nsonga y'enkyukakyuuka y'obudde n'ekirwadde kya COVID -19.
 
 
Awagiddwa mukamawe  Frank Tumwebaze(minista w'obulimi ) ategeezezza nti eggwanga lyakweyambisa olukung'aana luno okusensera  mu katale k'amawanga g'Afirika aka "Africa Continental Free Trade Area(AFCTA) " nga bayitira mu kirime ky'emwaanyi wamu n'okukutongoza ng'ekimu ku birime ebirina okuteekebwako essira mu nkulakulaaana ya ssemazinga w'Afirika olwe ssente empitirivu ze kiyingiza okuva mu katale k'Ensi yonna.
 
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});