Amawulire

Minisitule ebakubirizza okukozesa kondomu z'abakazi enkola empya okwetangira Mukenenya

MINISITULE y’Ebyobulamu ettukizza kaweefube w’okukubiriza abakyala okukozesa kondomu zaabwe eziri ku katale okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya n’okwewala embuto ze bateeyagalidde .

Minisitule ebakubirizza okukozesa kondomu z'abakazi enkola empya okwetangira Mukenenya
By: Jaliat Namuwaya, Journalist @New Vision

MINISITULE y’Ebyobulamu ettukizza kaweefube w’okukubiriza abakyala okukozesa kondomu zaabwe eziri ku katale okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya n’okwewala embuto ze bateeyagalidde .

Boniface Epok avunaanyizibwa ku kondomu mu Ministule y’Ebyobulamu yannyonnyodde nti kondomu z’abakyala bongedde okuzirongoosaamu bw'ogeraageranya ne ziri ezaasooka ku katale abakyala abasinga obungi zebaazira nga beekwasa nti zaali ziwunya ekisu so nga ate era zikola okuwoggana nga bali mu kikolwa ky’omukwano n’abaagalwa baabwe .

Ebimu ku byenjawulo ku kondomu y’abakyala erongooseddwaamu kuliko eky’okubeera nti kati enywera bulungi ku bisenge bya nnabaana omukyala bw’abeera agyensonsose mu bitundu by’ekyama nga yeetegekera akaboozi n’omwagalwa we , tekyalimu kisu kyonna yadde okukola okuleekana okw’engeri yonna .

Dr. Richard Mugahi omumyuka wa kominsona avunaanyizibwa ku by’obulamu bw’abakyala mu Ministule y’Ebyobulamu yagambye nti kondomu z’abakyala ezirongooseddwamu ziwerera ddala obukadde 3 eziri ku katale era nga kati essira balitadde ku kusomesa abakyala okwetoloola eggwanga ku nkozesa yaazo basobole okuzettanira naddala abakyala ab’omu byalo .

‘’Twagala abakyala babeera nga basobola okusalawo ku by’obulamu bwabwe nga omwami singa aba agaanye okwambala kondomu waakiri ye omukyala agyambale ,‘’ Dr. Mugahi bwe yategeezezza .

Abamu Ku batuuze B'e Dokolo Bwe babadde Baweebwa Obujjanjabi

Abamu Ku batuuze B'e Dokolo Bwe babadde Baweebwa Obujjanjabi

Okwogera bino basinzidde ku mukolo Uganda kwe yeegattide ku nsi yonna okukuza olunaku lwa ‘ self-care ‘ nga guno gwayindide mu distulikitti y'e Dokolo .

Dr. Charles Olaro avunaanyizibwa ku by’obujjanjabi eri abayi mu Ministule y’ebyobulamu yannyonyodde nti kati amaanyi bagongedde mu kutendeka abantu ku ngeri gye bayinza okwekumamu nga balamu okwewala okukwatibwa endwadde so nga ate naabo abalwadde gamba nga abatawaanyizibwa sukaali bongedde okubasomesa okwekubira empiso zaabwe ewaka nga tebagenze mu malwaliro , abakozesa empiso za kizaalaggumba nabo basobola okuzeekubira ewaka nga kino kye kiggyayo omulamwa gwa ‘self-care’ so nga ate era kiyambako okukendeeza omujjuzo gw’abalwadde mu malwaliro. 

Mu ngeri yeemu, Ministule y’Ebyobulamu eyongede obuyiiya mu nkoze y’obuntu obukozesebwa mu kwekebera endwadde nga siriimu , omusujja , akafuba n'ebirala nga bino byonna okubyekebeza tebikyetaagisa kugenda mu malwaliro .

Omukwanaganya w’emirimu mu kibiina ekirwanirira eddembe ly’ebyobulamu ekya CEHURD Anna Kukundakwe yasabye gavumenti okwongera okutereeza mu mateeka agafuga eby’obujjanjabi abalwadde abalina obusobozi babeere nga basobolera ddala bulungi okutuusibwako obujjanjabi nga tebavudde mu maka gaabwe kugenda mu malwaliro .

Ono yasanyukide kondomu z’abakyala ezirongooseddwamu n'ategeeza nti amaanyi galina kuteekebwa mu kuzibunyisa mu malwaliro ga gavumenti gonna mu ggwanga kisobozese abakyala ekiseera kyonna we babeera bazaagalide okubeera nga bazifuna ewatali kukaluubirirwa kwonna .

Tags: