Akabenje k'e Nakasongola kasse 4
Aug 14, 2023
Abantu bana bafudde n'abalala babiri ne baweebwa ebitanda mu kabenje akaagudde e Nakasongola ku luguudo okudda e Ggulu.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Godfrey Kigobero
Abantu bana bafudde n'abalala babiri ne baweebwa ebitanda mu kabenje akaagudde
e Nakasongola ku luguudo oludda e Ggulu.
Akabenje Kano kagudde ku kyalo Nkyankonwa mu kabuga k'e Katuugo e Nakasongola leero, ne katta bana.
Abafudde kuliko Victoria Nalubwama, Barnard Ntege, Manuel Nyakato ne Emannuel Isingoma ate ddereeva n'omulenzi omu ne balumizibwa bya nsusso.
Kyaddiridde loole Tata nnamba UBB 736 C okwonookera mu kkubo era ne bassaawo ebirabula ku buzibu buno.
Kigambibwa nti mmotoka UAM 930 P, kamunye eyabadde eva e Gulu , yayingiridde Tata n'etta bana.
Omwogezi wa poliisi mu Savana, Sam Twineamazima agambye nti emirambo gy'atwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Nakasongola ate abaalumiziddwa ne baweebwa ebitanda e Mulago ng'okunoonyereza kukolebwa.
No Comment