Abaffamire 5 bafiiridde mu kabenje k'ennyonyi nga bagenda okulambula

Apr 12, 2025

Omuntu ow'omukaaga yabadde omugoba w’ennyonyi gye babaddemu, ng’aboobuyinza bakyanoonyereza ekivuddeko akabenje kano, ekitannazuulwa.

NewVision Reporter
@NewVision

ABANTU mukaaga 6 okuli n’abaana basatu 3 bafiiridde mu kabenje k’ennyonyi y’ekika kya nnamunkanga ebaddemu abalambuzi ab’enju emu, bw’egudde mu mugga Hudson ogusangibwa mu kibuga New York mu America.

Omugga Hudson ennyonyi mwe yagudde.

Omugga Hudson ennyonyi mwe yagudde.

Mmeeya w’ekibuga kino Eric Adams, ategeezezza omukutu gwa AFP nti  abagenzi bataano (5) babadde bannansi ba Spain ng’owoomukaaga y’abadde omugoba w’ennyonyi gye babaddemu, ng’aboobuyinza bakyanoonyereza ekivuddeko akabenje kano, ekitannazuulwa.

Adams agambye nti we bukeeredde ku Lwokutaano ng’emirambo gy’abagenzi gyonna ginnyuluddwa okuva mu mugga ng’abakugu bakyagenda mu maaso n’okuzuula ekyavuddeko embeteza eno.

Abaserikale Abazze Okutaasa Embeera.

Abaserikale Abazze Okutaasa Embeera.

Guno si gwe mulundi ogusoose ng’akabenje k’ennyonyi katuga abalambuzi e New York, ng’akasinga okujjukirwa ke kaagwawo mu 2018, nnamunkanga eyali etisse abalambuzi bwe yagwa mu mugga gwa East River era abalambuzi abataano abaagirimu ne bafa ng’omugoba waayo omu yekka ye yasimattuka n’ebisago by’alifa alojja.

Ate mu 2009, nnamunkanga eyali etwala abalambuzi abava e Italy yatomeregana n’ennyonyi y’obwannannyini n’egwa mu mugga gwe gumu guno ogwa Huson River ne mufiiramu abantu Mwenda.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});