Ebyabaddewo nga Bobi agenze e Busoga
Sep 05, 2023
ABAWAGIZI b’ekibiina kya NUP e Mayuge baakedde kulindirira pulezidenti w’ekibiina kyabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ne bamulaga essanyu bwe baakwatiridde ku makubo okumwaniriza ssaako ebikumi n’ebikumu abaatambulidde ku mmotoka ye okumala essaawa 4 nnamba.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAWAGIZI b’ekibiina kya NUP e Mayuge baakedde kulindirira pulezidenti w’ekibiina kyabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ne bamulaga essanyu bwe baakwatiridde ku makubo okumwaniriza ssaako ebikumi n’ebikumu abaatambulidde ku mmotoka ye okumala essaawa 4 nnamba.
John Baptist Nambeshe (Manjiya) era nga ye mumyuka wa Pulezidenti w’ekibiina atwala ekitundu ky’obuvanjuba, yagambye nti engeri abantu b’e Mayuge gye baayanirizzaamu omukulembeze waabwe yayongedde okukakasa nti ddala beetaaga enkyukakyuka.
Kyagulanyi yeebazizza ab’e Mayuge olw’okumulonda mu kalulu akaggwa ekyamusobozesa okuwangula disitulikiti, n’abagamba nti yabasuubiza okubawa ekirabo ky’okubaddiza ennyanja bagyeyagaliremu bw’anaatuuka mu buyinza.
“Wakati mu bizibu by’obutaba na mirimu, abaana abatasoma, ebyenjigirizi ebibi, ebyobulamu ebizibu, ennyanja erina okudda mu mikono gyammwe, era n’abaserikale bamanyi amazima era mu kiseera ekituufu bajja kutwegattako,” Kyagulanyi bwe yategeezezza.
ABASABYE OKUKUUMA EMIREMBE
Kyagulanyi yasabye abawagizi ba NUP bakuume empisa n’emirembe era basigale nga batambuza obubaka bw’enkyukakyuka eri buli muntu gwe basanga. Yagguddewo ofiisi z’ekibiina mu disitulikiti era n’asuubiza okuziwa obuwagizi obwetaagisa.
Ku mulundi guno ababaka ba palamenti aba NUP bangi baamwegasseeko oluvannyuma lw’abasinga okumwesamba bwe yabadde alambula ebitundu by’obugwanjuba wiiki ewedde.
Eggulo ababaka abataabadde mu kulambula kwa wiiki ewedde bangi baalabiddwaako e Mayuge okwabadde; Stephen Sserubula (Lugazi Munisipaali), Geoffrey Lutaaya (Kakuuto), Brendah Nabukenya (mukazi/Luweero), Teddy Nambooze (mukazi/Mpigi), Francis Katabaazi (Kalungu East), Paul Nsubuga (Busiro North) ne Muwada Nkunyingi (Kyadondo East) eyabadde yaakadda mu ggwanga.
Bano beegasse ku baabadde e Buvanjuba mu disitulikiti ye Mbarara, Fort Portal, Kasese ne Kabale nga; Francis Zaake (Mityana munisipaali), Abdallah Kiwanuka (Mukono North), Derrick Nyeko (Makindye East), Patrick Nsanja (Ntenjeru South).
Bukedde ku Ssande yafulumizza emboozi ng’eraga okusattira okuli mu babaka abataawerekedde Kyagulanyi ng’alambula ebitundu by’obugwanjuba ate nga bonna yabasaba okumuwerekera ng’atuuka mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu.
No Comment